
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka, eby’emizannyo n’okwewummuza, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu akunze abantu ba Buganda mu bika byabwe eby’enjawulo okujja bawagire mu bungi nga Olugave n’Endiga balwanira engabo y’omwaka 2022.
Okusaba kuno, Owek. Ssekabembe akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde ayanjulira Obuganda engabo ezigenda okuwakanirwa.
Owek. Ssekabembe, Obuganda abulaze engabo 2 okuli ey’omupiira gw’ebigere mu mpaka z’abasajja awamu ne y’abakyala ng’eno ya mpaka za kubaka.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe fayinolo zigenda kubeerawo ku Lwomukaaga luno nga 11 March, 2023 mu kisaawe e Wankulukuku.

Owek Ssekabembe asabye Obuganda bwonna okweyiwa mu kisaawe e Wankulukuku okwongera okuwagira ebika mu nkola eya Obuganda bika.
Mungeri yeemu Owek Ssekabembe Kiberu akinogaanyiza nti mu kawefebe w’okuddamu okukomyawo ettuttumu ly’empaka zino, essira balitadde ku baana abato okubaagazisa okuwagira n’okumanya ebika byabwe.
Mu mupiira ogw’ebigere, Olugave lujja kuttunka ne Ndiga, ate omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu e Kkobe lyakuttunka ne Ffumbe.
Mu mupiira ogw’okubaka Engeye ejja kuttunka ne Mamba Gabunga, ate omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu Olugave lwakuttunka ne Nnyonyi Ennyange.
Okuyingira mu kisaawe e Wankulukuku kwa omutwalo 10,000/= ne 20, 000/= abakungu, ate abayizi bakusasula Shs. 5000.









