
Bya Ssemakula John
Kampala
Omusango gw’ababaka b’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana ogubadde gulina okutandika okuwulirwa mu kkooti ewozesa bakalintalo eya International Crimes Division of the High Court’ etuula e Kololo gwongezeddwayo.
Guno gubadde gulina okuwulirwa leero ku Mmande naye tegusobodde olw’ omubaka Ssewanyana okubeera mu mbeera embi ng’ono alemeddwa n’okufuluma emmotoka mwebamuleetedde.
Nga ayita mu bannamateeka be ababadde bakulembeddwamu Sam Muyizzi basabye omulamuzi Alice Komuhangi Khauka akkirize bano baweebwe Paasipooti zabwe basobole okutwalibwa e Nairobi mu Kenya bafune obujjanjabi obusingako.

Omulamuzi Komuhangi Khauka omusango agwongeddeyo okutuuka March 27, 2023.
Okusooka omubaka Ssegiriinya yasoose kulaga bannamawulire ebimu ku bitundu by’omubiri gwe byagamba nti birina ekirwadde ekibirya nga kino yakifunira mu kkomera.
Ssewanyana, Ssegiriinya awamu n’abalala 4 bavunaanibwa omusango gw’obutemu, obutujju wamu nokugezaako okutta omuntu nga gino gyonna gyekuusa ku bijambiya ebyali mukitundu kye Masaka mu 2021.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti bano beenyigiramu nga bateekamu ssente awamu n’okutuuza enkiiko ez’okutemula abantu.









