
Bya Francis Ndugwa
Jjemba – Ssingo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye okuzimba amalwaliro asatu mu masaza okuli Buddu, Ssingo ne Kyaggwe okusobola okwanguyiriza abantu be eby’obujjanjabi.
Ekyama kino kibotoddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, bw’abadde atongoza eddwaliro lya Red Rose mu ggombolola ya Ssaabaddu Kassanda ku kyalo Jjemba ku Lwokuna.
“Ssaabasajja agenda tuzimbira mu mwaka guno ogw’ebyensimbi amalwaliro asatu erimu e Busimbi wali e Mityana, eddala e Buddu mu ggombolola ye Mukungwe ate eddala e Kyaggwe mu ggombolola ye Nyenga. Era njagala kwebaza bannamityana abakimanya nti enteekateeka za Kabaka ziriina okubirwa mu ngalo nang’oma,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Ono alabudde abantu abamu abagezaako okusimbira enteekateeka Buganda ekkuuli okubivaako kubanga tebasobola kulemesa Mutanda kukolera bantu be.
Owek. Mayiga abantu abasabye okufaayo eri obulamu bwabwe wadde Nnyinimu abaduukiridde ate nga ne gavumenti eyawakati egezaako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo mu malwaliro gano.
Bano abasabye beemanyize okuyitangako mu malwaliro bakeberebwe nga kino kibayamba okubeera abalamu obulungi n’okumanya endwadde nga Kkookolo, entunuusi n’endala bukyali.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga enteekateeka eno Omutanda yasiima ebeere mu mwaka gw’ebyensimbi guno era nga Buddu, Ssingo ne Kyaggwe bebagenda okusooka okuganyulwa.

Ono alabudde abantu abateeka emiziziko mu nteekateeka zokuzimba amalwaliro ga Buganda nabasaba okweddako.
Owek. Mayiga asabye bannassingo okwongera okukola nnyo beezimbe era baweerere abaana kubanga buno buvunaanyizibwa bwabwe kibayambe okutegekera eggwanga ery’enkya wadde kino kya bbeeyi era nga kitawaanya.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki yaakikiridde minisita w’ebyobulamu era asabye abantu eby’obulamu okubitwala nga nsonga nkulu.
Ye Omwami wa Kabaka akulembera essaza lino, Mukwenda David Nantajja yeebaziza omutandisi w’eddwaliro lino atambulidde obulungi mu biragiro bya Ssaabasajja nakyuusa eby’obulamu mukitundu kino.
Omutandisi w’ eddwaliro lino, Geofrey Ssemwanga agamba nti wabaddewo obwetaavu okutumbula eby’obulamu mukitundu kino era nga kino bakukikola mu kaseera kekamu nga bwebatumbula ebyenjigiriza.









