
Bya Ssemakula John
Busujju
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II asabye abantu ba Kabaka naddala abazadde okubeera obulindaala kubeefuula abawa abaana babwe bbasale naye nga babatwala mu bintu bikyamu.
Okusaba kuno Kasujju akukoledde mu ssaza Busujju nga alambula emirimu egikolebwa Abaami bamagombolola ,Emiruka awamu n’ebifo byebalinako obuvunaanyizibwa n’ekigendererwa eky’okutumbula emirimu nga abazzaamu amaanyi.
“Abaami ba Kabaka mulabule abantu baffe ku bantu abeefuula abaweerera abaana baffe naye nga babatwala mukuzikirira. Bw’obeera ku WhatsApp bakulaga nga bwe baagala abaana ab’ebitone kumbe babatwala mu mize mirala,” Kasujju bw’ategeezezza.

Kasujju Kaberenge bano abasabye bulijjo okukuuma ettaka lya Kabaka n’ebintu bya Buganda basobole okubitaasa ku bantu abeesomye okubitwala wabula babiteekeko emirimu gy’enkulaakulana.
Ono asabye Abaami bano okukubiriza abantu bulijjo okusasula obusuulu buli mwaka kuba bwebuwera butandika okukaluubiriza era nasaba Abaami okukulemberamu okuleeta Oluwalo kisobozese emirimu gy’embuga okutambula obulungi.
Bbo Abaami ba Kabaka mu ggombolola zino, bategeezezza nti bafuna enkayana ze ttaka nnyingi nga zino ziva ku bananyini bibanja abagaana okweyanjula eri bannanyini ttaka n’ abesenza ku ttaka lya kabaka nga tebalina biwandiiko bitongole.
Mu bimu ku bintu Kasujju byalambudde mulimu emisiri gy’Emmwaanyi, ebiraalo by’ente, Amalwaliro ne poliisi z’ebitundu bino.
Essaza Busujju likolebwa amasaza 4 nga muno mulimu ,Maanyi ,Butayunja,Kakindu ne Malangala.









