
Bya Ssemakula John
Nabibuga – Kyaggwe
Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza omulimu ogwakolebwa omukyala Mariam Nalubega Namusoke ogw’okugunjula abaana be mu mpisa era abaweerezza Obwakabaka bwabwe obutemalira.
Obubaka buno Katikkiro abutisse minisita w’ Abavubuka n’Ebyemizannyo mu Bwakabaka Owek. Henry Ssekabembe Kiberu mukuziika maama w’ omuyimbi Mesach Ssemakula, omukyala Mariam Namusoke Nalubega eyavudde mu bulamu bwensi ku ntandikwa ya Sabbiiti.
Owek. Mayiga ategeezezza nti omugenzi abaana be yabakuza nga bawulize eri obwakabaka n’okusingira ddala Mesach Ssemakula kuba ono aweereza Obwakabaka mu ngeri ezitali zimu.
Ku lulwe Owek. Ssekabembe asabye bannabitone okukolerera obumu okutwala ekisaawe ky’ ebyamasanyu mu maaso kubanga bangi abakifunamu.

Ayogedde kulwa bannabitone era akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS, Hajji Abbey Mukiibi Nkaaga yeEbazizza maama wa Mesach olw’okulima olubimbi lwe naluggusa bweyakuza obulungi abaana be mumpisa wamu n’eddiini.
Bw’abadde ayogera kulwa banne, Mesach Ssemakula yeekokkodde abasumba abalowooza nti abantu okuwona ebibaluma balina kubasabira busabizi awatali kumira ddagala kubanga ne nnyina kimu kubyamunafuyizza ennyo.
Ye Minisita wa gavumenti, Kyeyune Harunah Kasolo yeebazizza Ssemakula olw’okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abantu ekiraga nti nnyina yali yamukuza bulungi.

Ate akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu alaze okunyolwa olw’ embeera y’ebyobulamu eri mu ggwanga nagamba nti bangi bafiirwa obulamu bwabwe nga tebafunye bujjanjabi bwebeetaaga.
Maama Nalubega Mariam yafudde Kirwadde kya Sukaali ne Puleesa ku lwokusatu lwa Sabbiiti eno nga afiiridde ku myaka 70 egyobukulu nga alese abaana 12.
Omukolo gw’okumuwerekera, Gen Edward Katumba Wamala, bannabitone abenjawulo omubadde abayimbi,bannakatemba nabalala bangi.









