
Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Katikkiro asisinkanye omuyimbi, Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleon ne mutoowe Douglas Sseguya, amanyiddwa nga Weasel, abamukyaliddeko mu Bulange leero ku Lwokutaano.
“Weebale okutambuza ekitone nosigala ku Main okumala ebbanga egwanvu kubanga tukimanyi nti Jose Chameleone bw’aba anaafulumya oluyimba abantu luba lugenda kubanyumira,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga amwebazizza olw’okukozesa ekitone nasobola okugasa abalala namusaba omulimu guno agutwale mu maaso.
Ono akikkaatirizza nti ekitone bwe kikozesebwa obulungi ne kissibwamu ekitiibwa ng’emirimu emirala, kireeta enkulaakulana n’okugasa abantu abalala bangi, ate ne gavumenti efuna omusolo.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, bannabitone tebalina njawulo n’abantu abakeera mu nnimiro emmwaanyi kuba endowooza omuntu gyalina esobola okumuleetera okufunamu.
Chameleon asabye Katikkiro okwongera amaanyi mu kulambika abantu ku nnono n’empisa, kuba bangi baazivaako, n’oluvannyuma n’amwanjulira enteekateeka y’ekivvulu kyatuumye ‘Ggwangamujje’ ekigenda okubeera ku Cricket Oval nga 10.2.2023.









