
Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina ekigatta abali mu mulimu gwa Takisi ki, Uganda Taxi Operators Federation (UTOF) beebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw’okubakwasizaako nga abawa bbasale basomese abaana babwe.
Okusiima kuno bano bakukoledde mu nsisinkano gyebabaddemu ne Ssentebe w’abakulu abatwala ebyenjigiriza mu masaza gonna aga Buganda, Omuk. Stephen Muyunga ku kitebe kyabwe mu Kampala ku Lwokusatu.
Kino kiddiridde abatakisi okukiika embuga mu nteekateeka y’Oluwalo nebasaba Katikkiro Charles Peter Mayiga asabe Beene asiime nabo bafune ku bbasale zino kuba embeera y’ebyenfuna ebayinze.
Bano Omuk. Stephen Muyunga abategeezezza nti enteekateeka ya Kabaka Education Fund (KEF) tesosola muntu yenna kasita abeera nga alina obwetaavu era nabasaba okweyuna embuga baganyulwe mu nteekateeka eno.
Omuk. Muyunga abeebazizza olw’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka ezigendereddwamu okusitula embeera z’abantu mu Buganda ne Uganda.
Abakubirizza okufaayo ennyo batuukirize obuvunanyizibwa bwabwe eri abaana n’okubalambika nga babagunjula mu mpisa ez’obuntubulamu era nabasaba bulijjo okulwanirira Nnamulondo nga baagala Ssaabasajja Kabaka okusobola okunyweza obumu.
Bano nga bakulembeddwamu Ssentebe wabwe Rashid Ssekindi beeyamye bulijjo okusigala nga bawulirize eri Nnamulondo.









