
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga, asisinkanye Omubaka w’omukago gw’amawanga ga Bulaaya (European Union) omuggya mu Uganda, Jan Sadeki nebateesa ku ngeri y’okutumbula enkolagana wakati wa Buganda n’omukago guno.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange – Mmengo ku Lwokusatu nga Ambasade Sadeki abadde awerekeddwako abakungu ab’enjawulo.
“Tunyumizza ku byafaayo bya Uganda ne Bugand n’engeri Obwakabaka gyebuli mu Uganda eyawamu. Twogedde neku birala bingi omuli Obutondebwensi, Obuwangwa n’ennono, emirimu egikolebwa okulwanyisa Obwavu naddala emmwaanyi n’engeri Obwakabaka gyebusobola okukolagana n’ekitebe ky’omukago gwa Bulaaya,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti bajja kugenda mu maaso n’okufuna ensisinkano nga zino okusobola okutumbula enkolagana n’okugabana amagezi.

Ye Ambasada Jan Sadeki, ategeezezza nti guno omukisa munene kuba yabadde ayagala okutuukako eri abo abagenda okumukyaza kuba yategedde nti Kampala wagenda okusimba amakanda esangibwa mu Buganda.
Ambasada Sadeki agambye nti mwetegefu okwongerayo enkolagana eno Buganda gyerina n’ekitebe kya Bulaaya kuba wadde akiikirira Bulaaya naye gyasibuka e Sweden ne Belgium nabo bali Obwakabaka nga bwekityo abadde alina okulaba ebyawano bwebitambula.

Ono atendereza Obwakabaka olw’ enteekateeka z’enkulaakulana zebulina awamu n’okutumbula embeera z’abantu nga balwanyisa obutabanguko mu maka.
Sadeki yeeyamye okwongera okutumbula emmwaanyi nga bayambako okugattako omutindo, okuyambako mu by’Obuwangwa n’ennono awamu n’ebintu ebirala.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu minisita w’ekikula ky’abantu wamu ne woofiisi ya maama Nnaabagereka, Dr Prosperous Nankindu Kavuma, minisita w’amawulire era omwogezi wa Buganda, Owek. Noah Kiyimba wamu n’abakungu abalala bangi.









