
Bya Ssemakula John
Kasubi – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abazimba ebizimbe mu kibuga ne walala okulekangawo ebibangirizi abantu mwebasobolera okukolera dduyiro basobole okukuuma emibiri gyabwe nga miramu.
Okusaba kuno akukoze yeetabye mu dduyiro wamu naba Kasubi Royal Hotel ku Lwokusatu mu Kampala.

” Nkoze dduyiro ne tiimu ez’enjawulo ku Kasubi Royal Hotel, okusikiriza abantu okumwettanira, bakuume emibiri nga miramu. Twewale okulowooza nti w’abagagga n’abaasoma. Ffenna twetaaga obulamu. Tumwenyigiremu ne bwetuba awaka,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga agambye nti ekimu kubisinga okukuuma emibiri nga miramu bulungi kwekugikozesa dduyiro nekigiyamba obutalumbibwa ndwadde.
Wano Katikkiro Mayiga yeebazizza omw. Samuel Matovu, eyateesereese, Frimosa ne Kasubi Royal Health Club, abasobodde okukola dduyiro awamu naye.









