
Bya Musasi Waffe
Jinja
Poliisi e Jinja eyimbudde abawagizi ba ttiimu ya Arsenal abakwatibwa ku Mmande nga bayisa ebivvulu nga tebaguddwako musango gwonna.
Bano abawerera ddala 7 babadde bamaze ennaku 2 mu nkomyo.
Poliisi bano yabakutte lwa kuyisa bivvulu ebimenya amateeka ku nguudo z’ekibuga Jinja bwebabadde bajaganya olw’okukuba Man. United ggoolo 3-2 ku Ssande mu kikopo kya English Premier League.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira, James Mubi ategeezezza nti bano basoose kulabulwa nga tebanaba kuyimbulwa.
Abamu ku bawagizi bano bategeezezza nti balabye nga kigwanidde kubanga babadde bamaze ekiseera kiwanvu nga tebakuba ttiimu eno mu mpaka za Premier League.
Bano era baweze okukola ekivvulu ekinene mu kisaawe e Bugembe okusingako wano singa bawangula ekikopo kya Sizoni eno wabula nga ku luno bakusooka kufuna lukusa okuva ku Poliisi.
Okuyimbulwa kwa bano kuddiridde abawagizi b’omupiira okwetoloola ensi yonna okuvumirira ekikolwa ky’okubakwata n’okubalemesa okujaguza.
Wabula Poliisi bano yabanukudde nti yabadde ekola mulimu gwaayo kuba bano babadde tebalina lukusa kuva wa Ssaabaduumizi wa poliisi ng’ etteeka bwerigamba.
Ku bawagizi bano 7, poliisi esigazizzaako omu oluvannyuma lw’okukizuula nti ono alina emisango gy’obubbi gyavunaanibwa.









