
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavumenti ya National Resistance Movement (NRM), okulondoola eddembe ly’obuntu awamu n’ enfuga ey’ amateeka mu ggwanga kuba buno buvunaanyizibwa bwabwe nga abali mu buyinza.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga, abuweeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne bannakibiina kino nga bakulembeddwamu Ssaabakunzi wabwe, Rosemary Nansubuga Ssenninde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Gavumenti eno abantu baajagala kuba yassa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, mutambulire awo, tebajaagala bwagazi naye bemwaddira mu bigere baali tebassa kitiibwa mu ddembe lya buntu era kyekya bakyaaya. Mmwe temukkiriza kuva ku miramwa egyo, obukulembeze obutambulira ku mateeka nsonga nkulu nnyo,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Kamalabyonna Mayiga asabye bannabyabufuzi okuwuliziganya era bakkaanye awatali ludda lumu okukaka olulala kuba ensi eno ekyaliwo ate nga bbo bannabyafuzi bajja kuvaawo waddewo abalala.

Owek. Mayiga era ategeezezza nti Mmengo eyaniriza buli muntu awatali kufaayo ku nzikkiriza z’ebyobufuzi kasita oli abeera nga assa ekitiibwa mu Ssaabasajja Kabaka.
Ono aweze okugenda mu maaso g’enteekateeka ezikwata obutereevu ku bantu ba Kabaka naddala mu mbeera zabwe ezabulijjo nga balwanyisa endwadde n’obwavu.

Katikkiro Mayiga yeebazizza Omukyala Ssenninde olw’okubeera omuntu mulamu kuba talina luyombo namuntu yenna wadde nga ali mu byabufuzi bwatyo nasaba abalala okumulabirako.
Ssaabakunzi wa NRM, Rosemary Ssenninde yeebazizza Obwakabaka olw’okukola enteekateeka ez’enjawulo ezitumbula embeera z’abantu omuli amalwaliro n’okukungaanya omusaayi kuba zino zigasa abantu bonna abaganda n’ abatali.
Eyaliko omubaka Ssenninde asabye Buganda ekkirize egatte amaanyi n’ekibiina ki NRM okusobola okunyweza enteekateeka ezikulaakulanya abantu mu Buganda ne Uganda.
Okusinziira ku Ssenninde eby’obufuzi n’obutebenkevu bwa Uganda bulina akakwate ku Buganda era ne NRM okujja mu buyinza yakozesa ekitundu kya Luweero ekiri mu Buganda okusobola okugoba abaali batulugunya bannayuganda.
Ssenninde agamba nti wadde waliwo ebisomooza omuli ekibbattaka n’obwavu naye baliko kyebakoze okulaba nga batumbula embeera z’abantu bwatyo nasaba Kamalabyonna Mayiga okuyambako okukyuusa endowooza z’abantu basobole okulaakulana.
Ye omwogezi w’ekibiina ki NRM, Emmanuel Dombo yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okukkiriza nabakyaaza era namusaba bulijjo okubawabula singa alaba nga bawaba.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, omumyuka we Ahmed Lwasa, Minisita Kyewalabye Male, Minisita Daudi Mpanga, Minisita Noah Kiyimba awamu n’ abakungu abawerako okuva mu kibiina ki NRM.









