
Bya Ssemakula John
Kyasa – Buddu
Bazzukulu ba Nakigoye ab’eddira Ekinyomo, nga bakulembeddwamu Jjajjaabwe, Omutaka Nakigoye Samson Nabbimba, baalamaze ku butaka bwabwe e Kyasa mu Buddu ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.
Minisita w’Obuwangwa; Obulambuzi n’Embiri, Owek. David Kyewalabye Male, abadde omugenyi ow’enjawulo, ku kulamaga kuno n’okutuuza Ttabamiruka w’ekika, asabye abazzukulu okutema empenda ezitwala ekika mu maaso.
Omutaka Nabbimba, asabye Obwakabaka okubayambako okununula ettunduttundu ku ttaka lyabwe eryatwalibwa aba National Forest Authority(NFA), kyokka nga lirimu eby’obuwangwa byabwe ebikulu.

Mu bubaka bwe, Owek. Male, yabasuubizza nti Obwakabaka buggya kwogerezeganya ne NFA, okulaba nga banunula ettaka lino.
Yasabye olukiiko lw’Abakata olufuzi okweddiza ensonga z’okulamaga ku butaka bw’ebika, lufulumyenga ne kalenda egobererwa, kisobozese n’ab’ebika ebirala okulamagako ku butaka bw’ebika ebirala, bannyikize obuwangwa bwabwe.
Oluvannyuma minisita yatongozza ekitabo ekitongole omuwandiikibwa bazzukulu ba Nakigoye bonna, awamu n’okukakasa kkooti eneetaawululanga emisango mu kika.

Abazzukulu era balonze Kafunvu Kankaka ku bw’omumyuka Asooka owa Katikkiro, so nga ye Alex Ntambi Kalinzi, yalondeddwa ku bw’Omumyuka Owookusatu owa Katikkiro w’ekika ky’ekinyomo.
Bano baatongozza n’engule 2, Kyasa ne Nakigoye, ezinaaweebwanga abazzukulu abasukkulumye ku bannaabwe mu kuwagira enteekateeka z’ekika, n’endala 1, Mugoye, eneeweebwanga ow’Akasolya.
Omukolo gwetabiddwako Abamasiga; Abemituba n’abazzukulu ku mitendera gy’ekika gyonna.









