• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Palamenti eggye obwesige mu Minisita Persis Namuganza

Gambuuze by Gambuuze
January 23, 2023
in Amawulire
0 0
0
Palamenti eggye obwesige mu Minisita Persis Namuganza
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Palamenti eyisizza ekiteeso ekigoba Minisita w’ebyettaka, amayumba n’ enkulaakulana y’ ebibuga, Omumbejja Persis Namuganza ku bukulu obwo olw’okukozesa olulimi olukyamu n’okuyisaamu Palamenti olugaayu.

Wabaddewo okulonda era kuno kwetabiddwamu 356, ku bano 348 bakkiriza okuggya obwesige mu Namuganza, 5 bagaanye ate 3 tebabaddeko ludda.

Kino kiddiridde akakiiko ka  Palamenti akateekebwawo okunoonyereza ku Namuganza okukizuula nti yavvoola Palamenti bweyali ayogera ku nsonga ze ttaka lye Naguru – Nakawa.

Mu alipoota esomeddwa, Ssentebe w’ akakiiko kano, Omubaka Mwine Mpaka eraze nti Minisita Namuganza yalemererwa obuvunaanyizibwa bwe naweebuula Palamenti mu maaso g’abantu n’okwonoona ekitiibwa kyaayo.

Akakiiko  k’amateeka mu Palamenti  kavaayo nekategeeza omwaka oguwedde nga Namuganza bweyaliko amateeka geyali amenye byeyali ayogera ku  nsonga z’ettaka lye Naguru.

Bano balumiriza nti Namuganza nga ayita ku mutimbagano n’amawulire yawakanya obuyinza bwa Sipiika awamu n’engeri Palamenti gyetambuzaamu emirimu.

Olwa leero akakiiko ka Mpaka kategeezezza  nti kazudde obujulizi obuluma Namuganza okweyisa obubi ekivvoola ekitibwa kye ng’omubaka wa Palamenti ne Palamenti yennyini.

“Akakiiko kasaba alipoota ababaka bagikkirize era batandike ku nteekateeka y’okuggya obwesige mu Minisita omubeezi ow’ebyettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga,  Persis Namuganza,” Mwine Mpaka bw’ategeezezza.

Mwine agamba nti wadde Namuganza bamuwa omukisa okujja mu kakiiko asobole okwewozaako wabula yagaana okulabikako nga talina nsonga yonna gyeyawa.

Akakiiko ka Palamenti kasemba ekya Minisita Namuganza asooke addeko ebbali olw’okwogera ku by’obulimba ku kiragiro kya Pulezidenti ekyali kiragira Uganda Land Commission okuwa Bamusigansimbi ettaka lya Nakawa – Naguru.

Ababaka nga bakulembeddwamu omubaka wa Agago North,  John Amos Okot balaga akakiiko obujulizi obuluma Namuganza omuli empapula z’amawulire, obutambi okuva ku NTV ne NBS nga Namuganza ayambalira Palamenti.

Omubaka wa Kazo, Dan Kimosho nga y’omu ku babaka 200 abateeka emikono ku kiteeso ky’okuggyamu Namuganza obwesige yategeeza akakiiko nti ekibonerezo kyokka ekiyinza okuweebwa Namuganza kumuggyamu bwesige.

Ebizibu bya Namuganza byatandika mu May 2022 oluvannyuma lw’ akakiiko ka Palamenti(Adhoc Committee) okulaga nga bweyenyigira mu mivuyo egyali mu kugaba yiika 142 ez’ettaka lye Naguru Pulezidenti lyeyali alagidde liweebwe Bamusigansimbi.

Minisita yeekandaga nafuluma akakiiko wabula oluvannyuma nategeeza bannamawulire nga akakiiko kano bwekatalina buyinza kumunoonyerezaako.

Minisita Namuganza yawakanya ebyali bizuuliddwa akakiiko nategeeza nti Sipiika Anita Among agezaako okumulwanyisa nga yeeyambisa akakiiko olw’obutakkanya bwebalina.

Minisita Namuganza wadde Palamenti emuggyemu obwesige naye omulimu omunene guli eri Pulezidenti Museveni eyamulonda okumusikiza omuntu omulala.

Namuganza era ajja kusigaza ekifo kye ng’omubaka w’ abantu be Bukono mu Palamenti.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.