• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

NUP eyimirizza Bigirwa n’abalala 4 lwakuleeta njawukana mu kibiina

Gambuuze by Gambuuze
January 12, 2023
in Amawulire
0 0
0
NUP eyimirizza Bigirwa n’abalala 4 lwakuleeta njawukana mu kibiina
0
SHARES
43
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Akulira ekibiina ki  National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine awummuza abakulembeze b’ekibiina 4 mu kitundu kye Busoga nga abalanga okusiga enjawukana n’entalo mu kibiina ekikontana ne Ssemateeka.

Abayimiriziddwa kuliko,  amyuka omukunzi w’ekibiina mukitundu kye Busoga, Moses Bigirwa, Ssentebe w’ekibiina mu kibuga Jinja Saulo  Nsongambi n’omukwanaganya w’ekibiina mu kitundu kya Busoga Bamu Lulenzi.

Abalala kuliko Jamal Ayagalaki ng’ono ye mukwanaganya w’abavubuka e Busoga ne Andrew Muwanguzi owa mwoyo gwa ggwanga mu kitundu kino.

Okuwummuzibwa kwa bano  kuyisiddwa mu kiwandiiko ekiteereddwako omukono gwa Ssaabawandiisi w’ekibiina, David Rubongoya.

“Pulezidenti wa National Unity Platform ayimirizza mbagirawo abakulembeze bano wammanga era nalonda akakiiko akagenda okubanoonyerezaako era balambike ekibiina ku kirina okuddako,” ekiwandiiko kya Rubongoya bwekisomye.

Bigirwa ne banne basongeddwamu olunwe okubeera emabega w’entalo n’enjawukana eziri mu kibiina naddala mukitundu kye Busoga.

Ssaabawandiisi Rubongoya agamba nti ensonga zino zitatanye erinnya ly’ ekibiina ekikontana n’amateeka agafuga abakulembeze b’ekibiina.

Okusinziira ku Rubongoya bano beeyambisa emikutu gy’ Omutimbagano awamu n’Amawulire okutatana ekifaananyi ky’ ekibiina era wadde bano bagezezaako okwogera nabo babadde tebafaayo bwebatyo nebasalawo okubaako kyebakolawo.

Kati bano balabuddwa obutabaako mulimu gwonna gwebakola kulwa kibiina okutuusa nga akakiiko akateereddwawo  nga kamaliriza okunoonyereza nekafulumya alipoota.

Akakiiko kano kakulemberwa  Jolly Mugisha,  namyukibwa omubka Aisha Kabanda era Rubongoya agamba nti akakiiko kano buli kimu kagenda kikolera mu musana era wajja kubaawo obwenkanya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist