Bya Francis Ndugwa
Kampala
Kkooti etaputa Ssemateeka esazizzaamu akawaayiro nnamba 25 ak’ etteeka lya ‘Computer Misuse’ akagufuula omusango singa omuntu akozesa essimu oba Kompyuta okumalako omulala emirembe gye.
Akawaayiro kano kabadde kateeka omusango gw’okuvvoola omulala era nga kateekawo ekibonerezo kya myaka 5 singa omuntu omusango gumusinga.
Leero ku Mmande Abalamuzi bonna aba kkooti etaputa Ssemateeka bakkiriziganyiza akawaayiro kano kasuulibwe kuba tekategeerekeka bulungi ate nga era kalemwa okunnyonnyola obutereevu omusango ogubeera guziddwa.
Kkooti egamba nti akawaayiro kano kabadde katyoboola eddembe ly’okweyogerera, Ssemateeka lyawa bannansi.
Abalamuzi bano nga bakuliddwamu omumyuka wa Ssaabalamuzi, Richard Buteera bagamba nti tewali nsonga ebadde erekesaawo kawaayiro kano ng’ate Uganda nsi ya Demokulaasiya era essa ekitiibwa mu ndagaano z’ensi yonna ezoogera ku ddembe ly’ abantu eritali limu.
Olw’ensonga eno, Kkooti eno esazeewo akawaayiro kano kaggyibwemu era bwetyo neragira abawaabi okuli Andrew Karamagi ne Robert Shaka baliyirirwe.
Ensala eno esanyudde abamu ku balwanirizi b’eddembe nga munnamateeka Eron Kiiza agamba nti ensala eno ebasanyudde kuba akawaayiro kano kabadde kalinyirira eddembe ly’obuntu.
Ennoongosereza mu tteeka lya ‘Computer Misuse’ zateekebwako omukono Pulezidenti Yoweri Museveni mu October w’omwaka oguwedde era kino kyawaliriza ekitongole ky’ ensi yonna ki Amnesty International okusaba etteeka lino lisazibwemu kuba lya kisibiramubbwa.