Bya Francis Ndugwa
Kampala
Abakulira Poliisi y’ebidduka mu ggwanga baleese ebiragiro ebijja okuyambako okukendeeza obubenje obuyitiridde okutwala obulamu bw’abantu.
Bino byogeddwa omwogezi wa poliisi y’ebidduka, Faridah Nampiima mu lukung’aana lwa bannamawulire olutuula e Naguru buli Mmande.
Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Faridah Nampiima agamba nti bakomezzaawo enkola ya baddereeva ba bbaasi okubeera nga basooka ku kakasibwa minisitule y’ebyenguudo n’ebyentambula okuvuga bbaasi zino.
Nampiima ategeezezza nti Minisitule ejja kuwa omuvuzi akakasiddwa ‘Badge’ emukakasa ng’ eno gyajja okugatta ku Pamiti ye kuba wabaddewo abasaabaza abantu naye nga tebalina bukugu.
Badge zirina okutimbibwa mu bbaasi abantu basobole okumanya abavuga n’okumulondoola singa agezaako okukola ebiteeka obulamu bwabwe mu matigga.
Bannanyini kampuni za bbaasi zino era bakuwangayo ebikwata ku baddereeva bano era nga bino byonna bakubikola mu bbanga lya wiiki emu yokka.
Akulira ekibiina ekitaba abavuzi ba bbaasi mu ggwanga, Hannington Kiwanuka enteekateeka eno agiwagidde nategeeza nti poliisi yalwawo dda kuba ejja kuyamba okuteekamu baddereeva obuvunaanyizibwa.
Ye akulira ekibiina ekiyambako okukendeeza obubenje ku nguudo ki Uganda Road Accidents Reduction Network Organisation (URARNO), Cuthbert Isingoma annyonnyodde nti obunafu buli ku bayigiriza abantu emmotoka kuba essira baliteeka ku misana olwo ekiro abayiga emmotoka nebakweyigiriza.
Ono asabye minisitule eyongere amanyi n’okussa akazito ku bayigiriza abantu okuvuga emmotoka baleme kuyigiriza bantu mmotoka wiiki bbiri olwo nebagenda ku luguudo okuvuga ate nga wabaawo bingi byebaba tebamanyi.
Poliisi era eragidde aba boodabooda okwambala obujaketi obwaaka era bafube okutambula n’ebiwandiiko ebyogera ku Pikipiki zabwe akadde konna.
Poliisi era egamba bukya omwezi guno gutandika (1-8, January, 2023) obubenje 340 bwebwakabaawo nga bubaddemu abantu 324, ku bano 79 baafa ate 245 nebabuukawo n’ebisago.