
Bya Ssemakula John
Kampala
Bannakibiina ki Democratic Party (DP) banenyeza poliisi olw’okulemwa okukola omulimu gwaayo ku kivvulu ky’okuyingira omwaka ekyali ku Freedom City nekituuka okufiiramu abantu abawera 10 bwebaali balwana okulaba ebiriroliro ebiyingira omwaka.
Bano nga bakulidddwa akulira Uganda Young Democrats (UYD) , Ismail Kiirya ategeezezza nti poliisi nga eri wamu n’abategesi bayita mu nteekateeka nga ekivvulu tekinabaawo era nebalambika ekivvulu bwekirina okutambula.
“Olwokuba ebyokwerinda byaffe bifaayo nnyo ku by’obufuzi okusinga omulimu gwennyini gwebirina okukola, bisinga kufa ku ssente era ku nsonga eyo twagala okusaasira abo abafiirwa ababwe kuba kino kyali kibi nnyo,” Kiirya bw’annyonnyodde.
Kiirya agasseeko nti ab’ebyokwerinda kyebali mu kukola kwekunoonya ani gwebalina okunenya era kati basazeewo musango kugussa ku Abtex eyali omutegesi.
Bino webijjidde nga omutegesi , Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abitex, yasindikiddwa ku alimanda ku misango gy’obulagajjavu.
Mu ngeri y’okwongera okumanya ekituufu, Poliisi era yayise nannyini kizimbe John Ssebalamu abeeko byannyonnyola ku byabaddewo.









