
Bya Ssemakula John
Wakiso
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okussa ku mwanjo ensonga zebyobulamu mwebyo byebaba bateeseteese okukola mu mwaka ngebimu ku byebalina okukola mu mwaka ogwo.
Owek. Mayiga agamba nti abantu batera okuteekateeka ebyo byebalina okukola mu mwaka omuli okugula poloti okuzimba ennyumba, okuwasa nebirala neberabira ensonga yebyobulamu songa engeri omuntu gyasobola okutuukirizaamu bino kwekubeera omulamu obulungi.

Bino Mukuumaddamula abyogeredde mu kuziika mutoowe Juliet Mary Nabitaka Kasujja e Janda Sakabusolo mu wakiso mu Ssaza Busiro nasaba abantu okwekebeza endwadde ng’omusujja neezo Omutanda zataddeko amaanyi .
” Omusujja gwa bulabe nnyo era y’emu ku ndwadde ezisinga okutawaanya Bannayuganda. Kyokka abamu bagugayaalirira ne batagujjanjaba. Kino nno kya bulabe nnyo gyemuli. Mbakubiriza okufaayo ennyo ku bulamu bwammwe mu mwaka guno omuggya. Bye mutegese okukola tebiggya kutuukirira singa temuube balamu. Omwoyo gw’Omugenzi Omukama agulamuze kisa.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Mukuumaddamula era akozeseza omukisa guno naddamu okukaatiriza ensonga yabantu okwekebeza endwadde naddala ezo omutanda zataddeko omulaka okulwanyisa mu bantu be babe balamu basobole okukola okuzza buganda ku ntikko.
Bba w’omugenzi Vincent Kasujja alambuludde ku mbeera mweyafiiridde ereetedde abantu bangi okwoza ku mmunye kubanga mukyala we teyalwadde nebateegera obulwadde nti buno bwebumuluma nasaba abantu okumyamba wakati mukuzza abaana abasatu bamulekedde.

Omukolo guno gwatandise n’ okusaba okwokwebaza katonda olwobulamu bwomugenzi okukuliddwamu Rev. Emmanuel Lutaaya nga ye musumba w’e Kisaasi omuggya era nga mu nju eno abeera muko.
Omugenzi Juliet Mary Nabitaka Kasujja yazaalibwa 1, October, 1970 nga afiiridde ku myaka 52 era alesse abaana basatu.
.









