
Bya Ssemakula John
Kampala
Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago akubye emmeeza ku nsimbi ezigenda okusaasaanyizibwa ku kukola enguudo 31 ezirimu ebinnya mu Kampala nga agamba nti waliwo abazongeddemu n’ekigendererwa ky’okuzibulaankanya.
Kino kiddiridde abantu abamu okwemulugunya ku nguudo eziri mu mbeera embi wabula KCCA netegeeza nti efunye obukadde bwa ddoola 288 okuva mu African Development Bank (ADB) okukola enguudo zino wansi w’enteekateeka ya ‘Kampala City Roads Rehabilitation Project (KCRRP).’
Enteekateeka y’okukola enguudo zino etandika mu February nga yakubuna Kirommita 70 okwetoloola divizoni za Kampala zonna ettaano.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, Loodimmeeya Erias Lukwago ategeezezza nti wadde ssente zebafuna nga KCCA ntono naye ate zebabeera basazeewo okuteeka mu bintu ebikulu nga enguudo ate zibbibwa.
“Kunguudo 31, African Development Bank zetaddemu ssente tukole omwaka guno, zikola Kirommita 67 ku nsimbi akasse kalamba kitegeeza buli kiromita bagenda kugikolera obuwumbi 14 n’obukadde 400. Ekintabula y’engeri ensimbi zino gyezigenda okukozesebwa kuba nnyingi ku mulimu,” Lukwagi bw’ategeezezza.
Omuloodi Lukwago annyonnyodde nti bwekiba buli kirommita yakumalawo obuwumbi 14 olwo banaaba bakozesezza ssente mmeka okukola kirommita 2110 ez’enguudo zonna mu Kampala.
Lukwago agamba nti mu mbeera bweti tewali bigambo bisobola kubamatiza ku muwendo guno wabula kyelaga lwattu nti waliwo abaagala okubba ssente zino.
Ono agasseeko nti akimanyi abali emabega w’ebikolwa bino be bamafiya abali mu gavumenti ne KCCA okusobola okwekussa. Lukwago alaze nga ensonga zino bweyamaze edda okuzitegeeza aba African Development Bank.
Lukwago alambuludde nti ensonga zino yazitwala ewa Kaliisoliiso wa gavumenti, Beti Kamya nga amusaba atunule mu bulyi bw’enguzi buno era amukyalireko ku City Hall amuwe obujulizi obumala ku nsonga eno naye tafunanga kuddibwamu.
Ye omwogezi wa KCCA, Simon Kasyate agamba nti tebalina musango kuba bagoberera bulungi amateeka agafuga okugula n’okutunda awamu n’okugaba Kontulakiti mu bitongole bya gavumenti. Ono era ategeezezza nti Loodimmeeya bwaba abadde alina ensonga amanyi bulungi woofiisi z’okutuukirira namanya ekituufu so si kugenda mu mawulire.
Wabula omwogezi wa Woofiisi ya Kaliisoliiso, Munira Ali tafunise kubaako kyatangaaza ku nsonga eno.









