
Bya Ssemakula John
Nsambya – Kampala
Dr Kizza Besigye ne Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bakeeredde mu kugobagana ne poliisi wakati mu kukuba ttiyaggaasi bwebadde egezaako okubagumbulula okuva e Nsambya Sharing Hall mu Kampala gyebabadde bategese okusaba okumalako omwaka.
Besigye ne Kyagulanyi babadde bakunze abawagizi babwe okubeegattako mukusaba kuno okwategekeddwa ab’oludda oluvuganya wansi w’omukago gu ‘United Forces of Change.’
Wabula Besigye nga yakulira ekisinde ki ‘People’s Front for Transition (PFT) ne Kyagulanyi nga ye Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), poliisi tebaganyizza kutuuka mu kifo kino okusobola okwetaba mukusaba okubadde kutandika ku ssaawa 3 ez’okumakya.

Wadde bagezezaako okwegayirira poliisi ebakkirize beetabe n’abawagizi babwe mukusaba, poliisi ebigaanye era nebalagira okwamuka ekifo kino.
Abakulembeze abalala okuli omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi ne Ssaabawandiisi David Lewis Rubongoya bonna balabiddwako nga basobeddwa ekiddako.
Bano oluvannyuma basazeewo okusabira wabweru w’ekifo wakati mukuyimba ennyimba ezisuusuuta abakulembeze baabwe.
Kyagulanyi bw’abadde ayogera ku nsonga eno ategeezezza nti kikwasa ensonyi okulaba nga poliisi yeyisa bweti naye nabalabula nti bino byonna byakukoma mu bwangu nga Pulezidenti Yoweri Museveni avudde mu buyinza.
“Nga tukolera wamu tujja kusobola okukomya embeera eno. Okwegatta ng’oludda oluvuganya kikulu y’ensonga lwaki tulina essuubi nti embeera eno egenda kukyuuka. Tetugenda kukkiriza mbeera eno, mulabe engeri gyebatuyisizzaamu leero, baleese abasirikale kumpi kubamalayo,” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.

Wabula omwogezi wa poliisi mu Kampala n’ emirilaano, Patrick Onyango ategeezezza nti okusaba kuno bakugaanye olw’okwekengera olw’ebikolwa by’ ebitujju ebyeyongera buli kadde nga ababi bayinza okukozesa omukisa guno nebakola aba Opozisoni ekibi.
Afande Onyango bano abawadde amagezi okukozesa amasinzizo amalala begatta kubaliyo era nalabula abantu ba bulijjo okwewala okusaba okutegekebwa abantu bano.
Ye omumyuka wa Loodimmeeya wa Kampala, Doreen Nyanjura ategeezezza nti omwaka 2022 gubadde muzibu gyebali naye asuubira 2023 okusingawo bwatyo nasaba ab’oludda oluvuganya okwongera okwegatta.









