
Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi wa kkooti ejulirwamu, Catherine Bamugemereire asabye abazadde okwagazisa abaana abalina ekitone ky’okuyimba okwettanira ennyimba z’amaloboozi kuba zirimu eby’okuyiga bingi okusinga ez’ensi.
Bino abyogeredde mu kibbiitu ky’omwaka eky’ennyimba z’amaloboozi aba Gospel Crescendo Elite Choir kyebategese mu kisaawe kya Mengo Senior School akawungeezi k’eggulo gyeyabadde omugenyi omukulu.
Omulamuzi Bamugemereirwe agamba nti kino kijja kubayamba okukuza ebitone byabwe ate basigale nga bampisa era banguyire obulamu kuba bajja kukula nga balina ekigendererwa.

Ono bwatyo asabye abantu obutagwamu ssuubi mu mbeera eno enyigiriza omutali nsimbi endwadde ezisomooza nebizibu ebirala bwatyo nasaba abantu okwegendereza ngabayingira omwaka 2023.
Akulira ebyenjiri mu bulabirizi bwe Namirembe, Rev. Samuel Muwonge yeebazizza abategesi olwokutegeka ekivvulu ekitaliimu byesitaza wakati mukuzza abantu eri katonda n’okubawa essanyu ly’ ebikujjuko bya Sekukkulu.
Ye Pulezidenti wa ‘Gospel Crescendo Elite Choir’, Ronald Keeya Ssenabulya ategeezezza nti Choir eno kati eri mu myaka 20 ngasinga tebayingiza bavubuka yandisanaawo kyokka ng’enjiri y’Omutonzi erina okubuulirirwa mu nnyimba.
Ekibbiitu kino kigenda kuberangawo buli mwaka choir ezenjawulo mwezegattira ku Gospel Cresecendo Elite Choir okukoloobya enyimba ezitendereza Omutonzi.









