• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Omutaka Kiggye omuggya ayanjuddwa eri Katikkiro

Gambuuze by Gambuuze
December 14, 2022
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Omutaka Kiggye omuggya ayanjuddwa eri Katikkiro
0
SHARES
33
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange  – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga ayanjuliddwa Omutaka omuggya  Henry Kulubya ayasikidde Kiggye,  Paul Daniel Mbazzi  eyazaama ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa Ntenvu.

Omutaka Mbazzi bamwanjulidde  mu Bulange Mmengo ku Lwokusatu era Katikkiro w’ ekika ky’ Empewo Ssaalongo Musisi Kalemba yamutuusizza ewa Katikkiro Mayiga.

Wano Mukuumaddamula Mayiga  akubirizza abaganda okukozesa embeera eriwo okulaakulanya ebika byabwe era bafube okutambula n’omulembe baleme kwesiba ku byadda basobole okugenda mu maaso.

Owek. Mayiga akkikaatiriza nakaatiriza obukulu bwebika mu muyungagano ogavva edda naalabula nti obukulembeze bwekika sibwakirwanire.

Okusinziira ku nnono yekika kyempeewo alya obukulu bwekika buliibwa mu mpalo era bano bava mu masiga ana (4) kwago 30 agali mu kika kino. Amasiga gano kuliko erya Nunda, Kinonko, Mpiima ne Kiyimba.

Omutaka Kiggye Paul Daniel Mbazzi yaabadde Kiggye ow’e 13 era oluvannyuma lw’okuva mu bulamu bw’ensi  bababdde balina okutuula balonde Kiggye omulala anakumaakuma abazzukulu n’okutwala mu maaso ensonga z’ekika.

Ye minisita avunaanyizibwa ku nnono n’obuwangwa, Owek.  David Kyewalabye Male yeebazizza ab’Ekika ky’ Empewo olw’okukola enteekateeka eno mu bwesimbu.

Okusinziira ku minisita Kyewalabye agambye nti batandise ennono y’okuwandiika  ennono n’okukuba ebirayiro ebiwera okugondera Nnamulondo era emikolo gyonna egikolebwa ku mutaka nga azaamye gigenda kuba gikolebwa Bwakabaka so si famire ye okusobola okunyweza ekitiibwa n’obulombolombo.

Kigye Henry Kulubya kati alindiridde kwanjulwa eri Maasomoogi ate ye Omutaka Paul Daniel Mbazzi waakuterekebwa olunaku lwenkya e Bubiro ku butaka bwekika kino mu ssaza Kyaggwe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist