
Bya Ssemakula John
Mengo
Omulangira Daudi Chwa asabye abantu ba Kabaka bulijjo okwewala endwadde naddala Mukenenya obusobola okubazza emabega era bafube okukuza abaana babwe obulungi.
Bino Omulangira Daudi Chwa abyogeredde mu lubiri lwa Ssaabasajja e Mengo bwabadde atikkula Bannabusiro Amakula.
Omulangira Chwa agambye nti wadde ebirwadde ebyenjawulo nga Ebola ne COVID-19 webiri mu ggwanga naye abantu amaaso tebalina kugaggya ku Mukenenya kuba ekirwadde kino kisobola bulungi okwewalika.
Omwami wa Kabaka amulamulirako eggombolola ya Mutuba IV Entebbe Lunnyo, Dennis Mpanga akulembeddemu abantu abakiise embuga mu nteekateeka y’okujjuza embiri za Ssaabasajja zibeeremu emmere.
Omwami w’eggombolola eno, Dennis Mpanga annyonyodde nti basoomozebwa banakigwannyizi abagufudde omugano okunnyaga ettaka ly’Obwakabaka nga nebifo eby’obuwangwa tebabitaliza kwossa nettaka lyabantu
Ye Omulangira Jonathan Muteesa yeebaziza Bannabusiro olw’okumannya obuvunaanyizibwa bwabwe ate nebafaayo okubutuukiriza.
Katikiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu asabye abagoba bebiduka okuvuga nobuvunannyizibwa okutaasa obulamu bwabantu naddala mu ggandaalo lino erisembedde.
Omumyuka ow’okubiri owa Ssebwana Vicent Kayongo asibiridde abantu ba kabaka entanda okwongera amaanyi mukunnyikiza enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu Buganda eyongere okuyitimuka.









