
Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina ekitaba abasawo ki ‘Uganda Medical Association (UMA), Dr Samuel Oledo agaanye okuddako ebbali nga bweyabadde asabiddwa bannakibiina basobole okumunoonyerezaako.
Kino kiddiridde ebyaliwo mu lukung’aana lwa Youth Patriotism Symposium e Kololo ku Lwomukaaga, Oledo gyeyasinziira nga ali n’abamu ku basawo okufukamira nebasaba Museveni akomewo mu 2026.
Ekikolwa kino abasawo bavaayo nebakivumirira nga bagamba nti enneeyisa eno teyali ya kintukilamu era ng’ono yakikola ku lulwe ng’ alina byeyeenoonyeza ng’omuntu.
Ku Lwokubiri Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Dr. Herbert Luswata yategeeza bannamawulire nti Oledo yali azzeeko ebbali basobole okunoonyereza ku bikolwa bye n’ebigendererwa byalina mu kino.
Wabula bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokusatu, Oledo agambye nti wadde akkiriza okumunoonyerezaako kugende mu maaso naye tagenda kuddako bbali nga banne bwebasaba.

“Nkyali Pulezidenti wa UMA era sigenda kuddako bbali. Nzikkiriza okunnoonyereza kugende mu maaso era y’ensonga lwaki mbadde nsirise era sirina kyenayingiddemu,” Oledo bw’ annyonnyodde.
Oledo agasseeko nti banne balina kyekubira kuba omwaka oguwedde yakola ekikolwa kyekimu nafukamira okusaba omuntu y’omu Pulezidenti Museveni abongeze omusaala kyokka tebavaayo kumunoonyerezaako.
Ono agamba nti ekikolwa kino yakikoze kusiima Pulezidenti Museveni kyeyakola okwongeza omusaala gw’abasawo era eno y’ensonga lwaki yamusabye akomewo yeesimbewo ayongere okutereeza embeera z’abasawo.









