• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asabye Abavubuka okunyweza obumu era baagale nnyo Kabaka

Gambuuze by Gambuuze
November 29, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asabye Abavubuka okunyweza obumu era baagale nnyo Kabaka
0
SHARES
12
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Mukuumaddamula wa Buganda,  Owek. Charles Peter Mayiga asabye Abavubuka okunyweza obumu yonna gyebawangaalira era baagale nnyo Kabaka wabwe era bafube okumanya Ennono n’Obuwangwa.

Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ayogerako eri abavubuka okwetoloola ensi yonna nga ayita ku mutimbagano  e Bulange Mmengo ku Lwokubiri.

Owek. Mayiga  agambye nti kikulu nnyo abavubuka okumanyagana yonna gyebali era bawangane ekitiibwa n’okuwuliziganya kibayambe okufuuka empagi eggumidde  basobole okubeera ab’omugaso eri eggwanga.

Bano Katikkiro Mayiga abawadde entanda bulijjo okuwuliriza okulambika okubaweebwa bakadde babwe bweba baagala okutambula obulungi munsi.

Katikkiro abavubuka abasomesezza ne ku nsonga ssemasonga 5; okunyweza n’okukuuma Nnamulondo; okugabana obuyinza mu nkola eya Federo; okukuuma ettaka lya Buganda n’ensalo zaalyo; okukola ennyo, n’okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka.

Abasabye okugoberera ebigenda mu maaso mu Bwakabaka nga beeyambisa emikutu gy’Amawulire egy’Obwakabaka; BBS Terefayina; CBS leediyo; n’emikutu gy’Obwakabaka ku mutimbagano gyonna era beewale okugendera ku bimala gabungeesebwa.

Owek. Mayiga abavubuka abakuutidde okukozesa emikisa egibeetoolodde yonna gyebali era beekwate Tekinologiya awamu n’obweggasi olwo basobole okusiga ensimbi bakulaalane era beegombese.

Mu ngeri ey’ enjawulo Katikkiro Mayiga yeebazizza abayimba aba Ganda Boyz olw’okutunda Buganda nga beeyambisa ekitone ky’okuyimba nebasobola okumanyisa Ekitiibwa kya Buganda mu Ssemazinga zonna ekiyambye okutumbula olulimi Oluganda.

Kamalabyonna era aliko ebibuuzo byayanukudde ebibadde bibuuzibwa abavubuka bano omubadde ebikwata ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka nakakasa nti ali mu mikono emituufu egy’ abasawo abakugu nga tewali nsonga yeetaagisa ssente kumujjanjaba.

Ku bantu abeesomye okuvvoola abakungu ba Ssaabasajja Kabaka, Katikkiro Mayiga agambye nti bano tebalina kumalirwako budde kuba bo obudde basinze kubuteeka ku bitwala Buganda mu maaso.

Ensisinkano ebaddemu abantu abasobye mu 300, okwetoloola ensi yonna nga yeetabiddwamu Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire, Owek. Noah Kiyimba, Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki, Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo, Omuk. Peter Zaake awamu n’abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist