
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’ebyensimbi mu Buganda era Omuwanika w’ Eggwanika lya Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu okuli abakulembeze n’abaweereza naddala mu Buganda bulijjo okwesigama ku bibalo n’okunoonyereza nga tebanasalawo bweba baagala okuleetawo enkulaakulana.
Okusaba kuno Owek. Waggwa Nsibirwa akukoledde ku mukolo gw’okutongoza ekitabo ‘Manya Essaza Lyo’ oguyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu ng’omukolo guno gwetabiddwako abakungu okuva mu kitongole ky’ ebibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistic (UBOS).
“Bwobeera Mbuubi notandikira ku kukola ekkolero ly’ engatto nga totaasizza bantu bo kufuna webafuluma oba oli mukuteebereza. Tulowooza nti ekitabo kino ekya ‘Manya Essaza Lyo ekituukira ddala ku miruka ku buli nsonga kijja kuwagira abaweereza n’abakulembeze okuteekateeka n’okusalawo obulungi okuggya abantu ba Buganda mu mbeera etali ntuufu,” Owek. Waggwa bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Owek. Waggwa ebibalo ebizuuliddwa bisobodde okuggyayo obulungi ensonga y’obwavu bwebiraze abantu bameka abalina engatto, Kabuyonjo mu Buganda omuli enzigale awamu neezo ebikozesa amazzi so nga mu bitundu ebirala batunuulira kinnya kyokka ekiraga nti Buganda eriko weetuuse.
Owek. Nsibirwa annyonnyodde nti ekitabo kino kyakuyamba okwongera okutuusa empeereza mu bantu ba Buganda nga basinziira ku bizuuliddwa.
Ye omukungu wa UBOS, John Mayende ategeezezza nt kino bakikoze okutuukiriza ebimu ku biri mu ndagaano gyebakola ne Buganda okusembeza ebibalo eri abantu ba Kabaka basobole okumanya ebibakwatako n’embeera ebeetolodde.
Ebimu ku biri mu kitabo kino ebizuuliddwa biraga nti essaza Kyadondo ly’elisingamu abantu abangi mu Buganda neriddirirwa Buddu ,olwo n’amalala ne gagoberera.

Essaza Busujju kizuliddwa nti ly’elisingamu abantu abakuliridde mu myaka 60 ate nga Butambala y’esingamu abaana abato.
Alipoota y’emu ekiraze nti mu Buganda balenzi bakyasukulumye ku bawala mu byenjigiriza ate nga essaza lye Kyadondo lye lisingamu abantu abayigirize olwo Buwekula ne Kkooki ne bakwebera mu byenjigiriza.
Eno era alazze nti abantu mu Buganda omusujja bwe bulwadde bwebakyasinze okulwala kyoka nga abaami bebasimze okulwala omusujja
Mu byobulimi alipoota egamba nti mu Buganda abantu bakyasinze kwetanira kulima kasooli na bijanjaalo.
Obwavu, ensula y’abantu n’obukyafu n’abyo byasimbiddwako nnyo esira mu kunonyereza kuno era mu byensula kivuliddwa nti obusiisira bukyali mu bitundu bya Ssese ne Buvuma ekiraga nti ebitundu ebirala biri yaddeyaddeko.
Okunoonyereza okuli mu kitabo kino kukoleddwa aba Buganda Statistics Unit ne bannamukago aba Uganda Bureau of Statistics (UBOS) okusobola okutumbula empeereza mu Buganda.









