
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita wa Buganda Ow’ebyokwerinda, Owek. David Kyewalabye Male asabye gavumenti naddala ebitongole by’ebyokwerinda obutamala gakwata bantu wabula basooke banoonyereze abantu abatuufu.
Obubaka buno Owek. Kyewalabye abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 37 okuva mu Bannabuleemeezi.
“Tujja kugenda mu maaso okusaba bekikwatako bakole okunoonyereza ekimala ku nsonga zino. Twewale embeera eyinza okutwaliramu abantu olw’okuba baali babalinda dda. Tusaba gavumenti ekole okunoonyereza okumala waleme kubaawo obunkenke mu bantu. Tusaba bateekeyo okutu ku mbeera eyinza okuleetera abantu okukola ebikolwa ebyo,” Owek. Kyewalabye bw’ agambye.

Ono annyonnyodde nti mu bulumbaganyi obuliwo ensangi zino butera okufiiramu omuntu ng’omu naye ogenda okuwulira mu mawulire nga gavumenti ekutte abasoba mu 100 ku nsonga y’emu ekintu ekireetawo ebibuuzo.
Owek. Male era akubirizza abaami ba Kabaka okubaako eby’enkulaakulana bye bakolera ku bitawuluzi, babikulaakulanye, ate n’okulambika abantu mu bitundu byabwe ku nsonga z’ettaka, abali ku bibanja, batereeze obusenze bwabwe, bannyini ttaka babamanye.
Male akuutidde abaami bano okukuuma ebintu by’Obwakabaka obutiribiri, nga beewala okubitunda n’okubikumpanya, n’okudibya engombo “ey’akuwa obwami aba akuwadde kulya”, bakitwale nti bbo baaweebwa obwami kukola, bakyuse embeera z’abantu ba Kabaka.
Ono yeebazizza abakoze ennyo okuzzaamu abantu ba Kabaka essuubi wakati mu mbeera ezibasomooza era nabasaba okusigala nga beerwanako era bakomye omuzze gw’okugoba ddiiru kuba tezitera kuvaamu birungi.
Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye gavumenti okunyweza eby’okwerinda mu bantu okutangira ekiwamba bantu n’okubatta, kitereeze emmeeme z’abantu, basobole okukola eby’enkulaakulana ebibazza ku ntikko.

Ate Kkangaawo, Oweek. Ronald Mulondo, aloopedde Katikkiro ng’abaami ba Kabaka mu Bulemeezi bwe bongedde amaanyi n’obukodyo mu buweereza bwabwe, era ng’omutindo gw’empeereza ey’emirimu gwongedde okulinnya.
Bbo ababaka ba Palamenti abava e Bulemeezi okubadde Hon. Brenda Nabukenya ne Hon. Robert Ssekitooleko, beeyamye okunywerera ku nsonga za Buganda, n’okunyweza kaweefube w’okulwanirira emmwanyi mu Buganda.
Ku gombolola ezikiise olwa leero kubaddeko; Bamunaanika; Mutuba IV Makulubita; Mutuba 9 Kamira; Mumyuka Nsege Butuntumula; Ssaabaddu Kapeeka; Mutuba X Semuto; Ssaabagabo Kibibi.
Baleese Olwalo lwa bukadde 37,650,000/=









