Bya Ssemakula John
Kampala
Abamu ku bantu ababadde bawangaala n’omugenzi Dr. Paul Kawanga Ssemogerere bamwogeddeko ng’obuntu abadde n’obulamu obwangu era atalina mululu gwa byanfuna wadde yaliko mu bifo ebyamaanyi mu ggwanga.
Omugenzi Ssemogerere eyafudde ku nkomerero ya wiiki ewedde obulamu bwe abadde abutambuza ng’omuntu wa bulijjo era ayagala abalala okubeera obulungi era nga yagoba eby’okwejalabya.
Okusinziira ku banywanyi b’omugenzi, ng’oggyeeko amakaage amatongole agasangibwa e Lubaga n’ennyumba gyeyasooka okuzimba e Kajjansi, omugenzi abadde talina bya bugagga birala byanaamiriza nga bweguli ensangi zino ku bakulembeze abamu.
Omuwandiisi wa Ssemogerere ow’ekyama, Henry Bazira Ssewanyana agamba nti obulamu bwa mukama we bubadde bumwewuunyisa kuba abadde talina njawulo namuntu wa bulijjo.
Ssewanyana annyonnyodde nti wadde mukama we abadde n’emmotoka emu ey’ekika kya Nissan Terano Model ya 1980 nga gyebabadde bakozesa awamu n’o mukyala, yagezaako nnyo okumwoleza agule Benz nabigaana nti yali teyeetaagisa.
Ono ategeezezza nti Ssemogerere ye munnabyabufuzi yekka alina likodi y’okuzzaayo ssente z’enfisi mu ggwanika naddala bweyabanga asindikiddwa ku ngendo entongole era kino kiriko obukakafu.
Ye omukuumi wa Dr. Ssemogerere, Amin Musisi ng’ono awangadde naye okumala emyaka 25 agasseeko nti mukama we abadde teyeeyagaliza wabula okufaayo buli omu asobole okubeera obulungi.
Musisi agamba nti mukakafu nti mu mmaali Ssemogerere gyalese temuli kyeyakukusa wadde okulya ensowole era abadde ttasiba busungu wadde okuba n’omutima ogwensalwa.
Musisi ategeezezza nti okusinga ensimbi ze abadde aziteeka mu bibira ebiri e Kalangala ne Nkumba so si goloofa n’ebirala nga abakulembeze b’ensangi zino.
Ate Mukubabyasi Lubwama Lutaakome amaze ebanga ng’alondoola eby’obufuzi agamba nti Ssemogerere gwe mujiji gw’abakulembeze abaasoka era abateketeeke obulungi abatayina mutima gwakwegaggawaza wabula okukolera eggwanga lye.
Ono agamba obwesimbu bwa Ssemogerere bulabikide buli wabade awerereza nga n’abalowoozebwa okuba abalabe be abasembeza.
Mukubabyasi alabudde abakulembeze abazze n’omuze ogwokweza buli kantu nabasaba okubaako kyebayigira ku Ssemogerere.
Dr. Paul Kawanga Ssemogerere aziiikiddwa e Nattale – Nkumba mu Busiro era nga yafiiridde ku myaka gy’obukulu 90.