
Bya Ssemakula John
Lubaga
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Omulongo Victoria Babirye Makumbi nga y’abadde mukyala w’ Omuk. George William Makumbi, eyabuuse wiiki ewedde era nebumusiima olw’ okwagala Kabaka we awamu n’ekika kye.
Obubaka buno busomeddwa Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika, era y’atuusizza obubaka bwa Katikkiro, mw’akubagirizza Omuk. Makumbi n’abennyumba ye olw’okufiirwa emu ku mpagi zaayo enkulu.
Ku lulwe, Ssaabawolereza akuutidde abantu okufubanga ennyo okulondoola emmaali y’abagenzi ereme kusaanawo, kubanga abantu abasinga bwe bafa, n’emmaali yaabwe efa olw’obutalondoolwa.

Omulongo Victoria Babirye Makumbi y’abadde mukyala w’Omuk. George William Makumbi, omu ku bakiise mu Kkooti eya Kisekwa etuula mu Bulange e Mmengo.
Ekitambiro ky’emmisa ekikulembedde omugenzi kikulembeddwamu Msgr. Charles Kasibante, era amutenderezza nnyo olw’okubunyisa enjiri ya Kristu mu bifo eby’enjawulo, ate nga erabikidde nnyo ne mu bikolwa bye. Msgr. Kasibante asiimye Omugenzi olw’okulumirirwa abalala n’atakulembeze kya nfunira wa nga abasinga bwebakola ensangi zino.

Bakadde b’omugenzi bamwogeddeko nga abadde ow’ekisa; ayagadde ennyo eddiini ye; nga mutetenkanya, abadde asala amagezi mu buli mbeera, nga yasobola n’okuzimbira abantu b’e Nateete oluzzi olw’amazzi amayonjo.
Oweek Martin Sseremba Kasekende naye abaddewo.









