• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Kyewalabye abangudde aba Rotary Peace Fellows ku nnono ezikuuma emirembe

Gambuuze by Gambuuze
November 16, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Owek. Kyewalabye abangudde aba Rotary Peace Fellows ku nnono ezikuuma emirembe
0
SHARES
34
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Minisita avunaanyizibwa ku  lulimi, Embiri,  Ennono n’Obuwangwa, Owek. David Kyewalabye Male abangudde abayizi b’ettendekero lya Rotary Peace Center e Makerere University ku ngeri ennono n’obuwangwa gyebisobola okukozesebwa okukuuma emirembe.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era wano Owek. Kyewalabye abategeezezza ku nnono ez’enjawulo eziwangadde ebyaasa nga zonna zagenderera kukuuma mirembe.

” Tetulondawo mirembe nti tubeera banafu naye  bwotunuulira ebigenda mu maaso mu Russia ne Ukraine tekuli muwanguzi naye abantu babonaabona era tusaba nti lumu abali emabega w’olutalo luno banalaba obwetaaga bw’ emirembe. Ffe bajjajja ffe bayagala nnyo emirembe era Obwakabaka bwaffe bwogerwako nga obwali butegekeddwa obulungi,” Owek. Kyewalabye bw’ategeezezza

Ono agasseeko nti  Buganda yazimbibwa n’enkola ezigonjoola ensonga okuli Olukiiko olukulu olwa Buganda, balamulanga ensonga mu bika nga zisobola okutuukira ddala ewa Kabaka nga kino kyonna kyali mu kusaawo mirembe.

Minisita Male agambye nti Abaganda bateekanga amagezi ag’enjawulo mu mpisa ne nneeyisa awamu n’ennono nga bino byebyayitimusa Buganda nefuuka eky’okulabirako eri ebitundu ebirala.

Abayizi bano basibuka mu mawanga agenjawulo  okuli Nigeria , Argentina,  Kenya , Ghana namalala  era  basibwamu ensimbi ekibiina ki Rotary era bamannyiddwa nga Rotary Peace Fellows.

Minisita Kyewalabye annyonyodde nti   obugunjufu nempisa za Buganda mu kunnyweza Obumu nokukuuma eddembe mu bantu  byebimu ku  mpagi enkulu abayizi bano zebeetaga  okumannya okugussa amasomo gebaliko era  mukubangula kwe bino abisizaako essira.

Okusinziira ku Minisita Kyewalabye eno y’ensonga lwaki Obwakabaka bwasindika abantu e Busoga Bugisu okubangula abaayo ku nteekateeka ez’enjawulo nga kino n’abazungu abajja wano bakiwaako obujulizi mu bbaluwa gyebawandiikira Nnaabakyala wa Bungereza.

Omusomesa eyakulembeddemu abayizi bano, Ivan Bwowe yeebaziza Obwakabaka olw’okukolaganira wamu nabo okulaba nga babaako ettofaali eddene lyebagatta ku bayizi ekibasobozesa okufuluma nga bakugusse nga  bwebateekeddwa.

Bwowe agamba  nti bukya Buganda ebawa omukisa guno abayizi babwe bangi bagatiddwako kinene.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist