
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, asabye abantu okutendeka obulungi ababali wansi nabo bategeere entambuza y’emirimu kiyambe emirimu okugenda mu maaso akaseera konna.
Okwogera bino, Owek. Mugumbule abadde atikkula Oluwalo olusobye mu bukadde 100 okuva mu Bannakyaddondwa ne Bannabutambala ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.
“Abali mu buvunaayizibwa yonna gyemuli muyigirize bemuli nabo bamenye eky’okukola kisobozese emirimu okugenda mu maaso nga museseetuse nemwambuka amadaala oba nemuva mu nsi,” Owek. Mugumbule bw’ategeezezza bw’abadde ayogera kweyali omumyuka we mukiseera weyabeerera Kaggo, Agnes Nakibirige eyava mu bulamu bwensi gyebuvuddeko.

Okusinziira ku Sipiika Mugumbule baweereza bulungi era emirimu Kaggo Nakibirige yagiyiga era bweyatuuka okuweebwa obuvunaanyizibwa obulala munne yasobola okutwala mu maaso emirimu negitambula.
Ono asaasidde abantu be Kyaddondo olw’okuvibwako Kaggo Nakibirige kuba yali omuntu omukozi, ayagala Kabaka we era ayagaliza abalala ebirungi.
Owek. Mugumbule akubiriza abantu okwettanira enteekateeka y’ Emmwaanyi Terimba kuba lye kkubo lyokka erigenda okubayamba okulaakulana era Buganda esobole okudda ku ntikko nasaba abantu obutetundako ttaka kuba bwebuwangwa era mwetuba ate nga bwetugenda okudda.
Yeebazizza Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo n’abantu okuli abasuubuzi ne baddeereva batakisi awamu nabakola mu butale olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe bulijjo nga baleeta Amakula awamu n’Oluwalo obutakoowa.

Ye Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu Owek Joseph Kawuki yeebaziza Abaami b’ eggombolola olwokufaayo okubunnyisa enteekateeka nemirimu gy’Obwakabaka mu bantu be ekyongera okunnyweza Obwakabaka.
Abaami be gombolola nakulembeddemu abantu bano baloopye embuga ebibasoomoza okuli ekibba ttaka , obwavu obukudde ejjembe nebiralala awamu n’ ebirwadde ebiyinza okubazza ku muggalo .
Oluwalo lwa leero lwetabiddwamu abakulembeze mu gavumenti eyawakati, ebitongole ebyenjawulo okubadde Uganda Taxi Operators Federation , abasuubuzi mu katale k’e Nakasero ekibiina ekitaba abasuubuzi Ki KACITA ebibiina byobwegassi nabalala era baweze okwetaba mu buli nteekateeka z’Obwakabaka.









