• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ekizungirizi kya Uganda kisindikiddwa mubwengula

Gambuuze by Gambuuze
November 7, 2022
in Amawulire
0 0
0
Ekizungirizi kya Uganda kisindikiddwa mubwengula
0
SHARES
57
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kampala

Ekizungirizi kya Uganda kyaddaaki kisindikiddwa mu bwengula oluvannyuma lwakino obutasoboka eggulo ku Ssande olw’okubaawo okulabula okuva ku kadde akalabula ku muliro era  aba National Aeronautics and Space Administration (NASA) nebongezaayo okutuuka leero .

Olwa leero ku Mmande byonna bitambudde bulungi e Dulles, Virginia mu Amerika era ku ssaawa 7: 27 ekivungirizi kino ekituumiddwa PearlAfricaSat-1 kyolekedde obwengula .

Ekivungirizi kino kyazimbiddwa ba Yinginiya bannayuganda basatu okuli’ Edward Mujuni, Bonny Omara ne Derrick Tebusweke wansi w’omukago gwa BIRDS Program ogwa Japan oguyambako amawanga agatanagenda mubwengula okukikola.

Kinajjukirwa nti Uganda yakola omukago naba Kyushu Institute of Technology (Kyutech) e Japan nga mukino baalina okuyambako bayinginiya basatu okuyiga engeri y’okukolamu ebivungirizi, okubigezesa era bano balina okukolera Uganda ekizungirizi ekisookera ddala.

Ekizungirizi kino kigenda kuyamba okunoonyereza n’okwekeneenya ku nteebereza y’obudde, ettaka, amazzi  n’okuzuula eby’obugagga by’omu ttaka, okulondoola eby’obulimi, okuteekerateekera eggwanga, okunyweza eby’okwerinda ku nsalo awamu n’okwerinda obutyaabaga.

PearlAfricaSat-1 egenda kuyamba okukwata ebifananyi nga kisinziira mu bwengula okulaga omutindo gw’ amazzi, obugimu bw’ettaka, enkozesa y’ettaka awamu n’ensonga endala enkulu.

Kati Uganda ejja kusobola okwawula ettaka eririko ebibira nebitali, erya ffaamu awamu n’okulaga engeri ebintu gyebikulamu okusobola okutumbula embeera z’abantu mu ggwanga.

Ekizungirizi kino era kyakukola ekyamaanyi ku kusima amafuta awamu ne ggaasi awamu n’okulondoola omudumu gw’ amafuta agasimwa mu Uganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist