Bya Ssemakula John
Sisinkana Ssaabaminisita wa Bungereza omuggya ng’ono yabadde minisita w’ebyenfuna mu ggwanga eryo Rishi Sunak w agenda okufuuka Ssaabaminisita omuggya oluvannyuma lwa munne gw’abadde naye mu lwokaano Penny Mordaunt okulemererwa okuyita ku Mmande.
Sunak ow’emyaka 42 nga alina emirandira mu Buyindi, ye Ssaabaminisita asoose okufuna obukulu buno ku myaka emito nga si mungereza nnansangwa mu myaka 200 egiyise.
Wabula ono alina akakwate ku Uganda kuba bakadde be baaliko mu Uganda nga mwebabeera wabula Idi Amin bweyali agoba Abayindi nabo teyabataliza bwebatyo nebaddukira e Bungereza era nebafuuka batuuze baayo.
Kino kiddiridde abadde Ssaabaminisita Liz Truss okusuulawo obukulu buno nga yakabumalako emyezi emitono ddala olw’embeera y’ebyenfuna eyamuyinze.
Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire oluvannyuma lw’okulangirirwa nga omukulembeze w’ekibiina ki Conservative Party, Sunak yagambye nti kyasanyu okulaba nti yateereddwamu obwesige nalondebwa kubwa Ssaabaminisita.
Ebikwata ku Sunak
Sunak yazaalibwa mu 1980 e Southampton mu Bungereza era ye mukulu mu baana basatu abakkitaawe okuva mu lulyo lya Punjabi. Kitaawe yali musawo ate nnyina nga atunda ddagala lya kizungu era Sunak y’omu ku bamuyambanga ku mirimu.
Ono yasomerako ku ssomero lya Winchester College era eno ye yasooka okubeera omukulembeze w’abayizi nga muyindi era nalondebwa n’okubeera omukung’aanya w’ olupapula lw’amawulire olwali luddukanyizibwa abayizi ku ssomero eryo.
Sunak yeyongerayo nasoma eby’obufuzi n’ebyenfuna ku Lincoln College mu ssettendekero wa Oxford gyeyafuna ddiguli era y’omu ku basinga.
Alina ddiguli ey’okubiri okuva ku Stanford University, era eno gyeyasisinkanira mukyala we, Akshata Murthy nebafumbirigana.