Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku bbago erifuga enkozesa ya Kompyuta n’omutimbagano eryaleetebwa omubaka wa Kampala Central Mohammad Nsereko nga kati lifuuse tteeka.
Bino bibadde mukiwandiiko ekifulumiziddwa woofiisi ya Pulezidenti ku Lwokuna.
Etteeka lino ligufuula omusango eri omuntu yenna akozesa obubi omutimbagano nemikutu mukwanira wala era n’omuntu okukwata n’okusaasaanya amaloboozi oba akatambi k’ omuntu nga tasoose kuwa lukusa.
Pulezidenti Museveni era atadde omukono ku mabago amalala 3 omuli; erifuga okusima eby’obugagga eby’omuttaka, enoongosereza mu tteeka erifuga Kampala erya 2022, etteeka erifuga okuwandiika abategekera ebibuga erya 2022.
Kinajjukirwa nti nga september 8, Palamenti yayisa ebbago erifuga omutimbagano n’enkozesa ya ‘Social Media’ wabula nga abatunuulizi b’ensonga za Tekinologiya bagamba nti kino kigenda kulinyirira eddembe ly’abantu abakozesa omutimbagano.
Bano era bawakanya ekibonerezo ky’obukadde 10 oba okusibwa emyaka ettaano oba byombi ku muntu asingisibwa ogw’okukozesa obubi Sosolo mediya nga bagamba nti kino kinene nnyo.
Minisita avunaanyizibwa ku Tekinologiya mu gavumenti eyeekisiikirize, Gorreth Namugga agamba nti ensonga y’okukozesa obubi Sosolo Mediya teyateesebwako mu kakiiko ka Palamenti kwatuula era yeewuunya gyebakaggya okukagatta mu tteeka lino.
Omubaka Namugga ategeezezza nti Minisitule ya Tekinologiya teyeekeneenya tteeka lino kimala era tewali kitongole kyonna kikwatibwako ku nsonga eno kyebuuzibwako wadde abantu era ebimu ku biri mu tteeka lino birowoozo bya bantu abalina ensonga zabwe ez’obuntu ku Sosolo Mediya.