
Bya Ssemakula John
Najjanankumbi – Kyaddondo
Ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC), kisabye eggye lya UPDF ligobe Gen Muhoozi Kainerugaba olw’okweyisa mungeri etasaana navumaganya ekifaananyi ky’eggye lino.
Omwogezi w’ekibiina kino, Ibrahim Ssemujju Nganda bino yabitegeezezza bannamawulire ku Mmande e Najjanankumbi nakakasa nti bakuddukira mu kkooti ku nsonga y’okukuza Muhoozi nga yakamala okulumba eggwanga lya Kenya nga ayita ku mutimbagano.
“ Etteeka lirambulukufu. Empisa zino tezikkirizibwa. Okumukuza, Museveni yayisizza olugaayu mu mateeka enkola y’okukuza asiiwuuse empisa terina kukkirizibwa. Kino Museveni kyeyakoze kigenda kukolebwa abalala kuba yabalaze eky’okulabirako,” Ssemujju bw’ategeezezza.
Kinajjukirwa nti Gen Museveni nga ye muduumizi w’Amagye ag’okuntikko yagobye mutabani we Muhoozi Kainerugaba ku buduumizi bw’amagye ag’okuttaka wiiki ewedde olw’okutegeeza nga bwasobola okuwamba Nairobi mu wiiki 2 zokka.
Wabula ate Museveni yamukuzizza nga agamba nti alina bingi byakoze awamu nebyo byakyasobola okukola wadde yakoze ensobi bwatyo namufuula Genero omujjuvu.
Olwa leero ku Mmande, kitaawe omuto, Gen Salim Saleh ng’ali wamu ne mukyala wa Muhoozi, Charlotte Muhoozi bamwambazizza ennyota zino mu butongole e Bombo.
Ssemujju awakanyiza ebya Museveni okwekwasa ekya Muhoozi okubeera n’obukugu obwenjawulo okumukuza nagamba nti bwaba mulungi ekyankanidde awo amutwale ku ffaamu ye gyabeera akolera.
Okusinziira ku Ssemujju, Muhoozi alina okugobwa mu buswavu era aggalirwe mu kkomera e Luzira kuba etteeka erufuga eggye lya UPDF akawaayiro nnamba 145 kyerigamba.









