• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Buganda yakubangula abantu ku butonde bw’ensi ng’ ekuza Ameefuga gaayo ag’emyaka 60

Gambuuze by Gambuuze
October 4, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Buganda yakubangula abantu ku butonde bw’ensi ng’ ekuza Ameefuga gaayo ag’emyaka 60

Minisita Omubeezi owa gavumenti mu Buganda, Joseph Kawuki ng'ayogera ku nteekateeka ya Bulungibwansi 2022.

0
SHARES
52
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Minisita Omubeezi owa gavumenti mu Buganda, Joseph Kawuki ng’ayogera ku nteekateeka ya Bulungibwansi 2022.

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki ategeezezza nti Buganda etegese okwongera okubangula abantu ku butonde bwensi n’engeri y’okubukuumamu nga ejaguza emyaka 60 bukya efuna bwetwaze okuva ku bafuzi b’Amatwale.

Okulangirira kino minisita Kawuki abadde mu lukung’aana lwa bannamawulire mu Bulange  Mmengo ku Lwokubiri ng’alambika ku lunaku luno.

Okusinziira ku minisita Kawuki ebigenda okukolebwa mulimu; okubangula abantu ku mateeka agakwata ku butondebwensi, okukola Bulungibwansi awamu n’okusimba emiti awamu n’ekibira kya Kabaka.

Emikolo emikulu gigenda kukwatibwa ku Lwomukaaga luno nga 8th,  October, 2022 era lwe lunaku Beene lweyawaayo buli mwaka okukulizaako olunaku lwa Bulungibwansi mu Buganda ne gavumenti ez’ebitundu.

Ebijaguzo by’ omulundi guno biri wansi w’omulamwa, ogugamba nti,  ‘Tunyweeze enkola ya Bulungibwansi okukuuma Obutonde bw’ensi ‘.

Minisita Kawuki  asinzidde wano naakubiriza  abantu okwennyigira mu buli nteekateeka  okugyayo obulungi ekitiibwa kyobwakabaka.

Kinajjukirwa nti Sabiiti ya Bulungibwansi yatongozeddwa eggulo ng’ebimu ku bikujjuko ebikulemberamu olunaku luno nga kuno kwekugenda okugattibwa enteekateeka endala.

Owek. Kawuki agambye nti  Bulungibwansi wakukolebwa mu masaza ga Kabaka gonna era abaayo basimbe emiti era bongere okunnyikiza empisa mu bantu.

Enteekateeka ezigenda okugoberera mulimu okulambula ennyumba ezazimbirwa abantu abeetaaga okuberwa mu ssaza Kyaggwe.

Era ku Lwokutaano nga 7,  ennono y’ Amakula agaweebwa Ssaabasajja Kabaka egenda kukolebwa nga gano gakukung’aanyizibwa okuva mu bantu ab’enjawulo.

Owek. Kawuki asabye abantu ba Kabaka okwetanira buli nteekateeka  okugyayo ekitiibwa kyobwakabaka.

Kinajjukirwa nti Abangereza bwebaali tebanawa Uganda eyawamu obwetwaaze nga 9, October, 1962 basooka kubuwa Buganda nga 8, October 1962.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist