• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Ssaabasajja Kabaka akungubagidde Omuzira Nabakooza, alagidde Obuganda okumuyigirako

Gambuuze by Gambuuze
October 3, 2022
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka akungubagidde Omuzira Nabakooza, alagidde Obuganda okumuyigirako
0
SHARES
34
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya  Francis Ndugwa

Nsambya – Mawogola

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde Omuzira wa Buganda,  Omugenzi Angelina Nabakooza eyakweka Ssekabaka Edward Muteesa II ku basajja ba Milton Obote abaali bamuwenja obuyiso.

Beene  obubaka buno abutadde mu kiwandiiko kyaweereza eri bamulekwa okuli; Nakamate, Namuwnge, Nantumbwe, Namale, Nambooze, Nankabirwa n’omuzzukulu Nakabirye Nanziri omugenzi gwayakwasa Obwakabaka bumulabirire.

Omutanda era ajjukiza Obuganda entanda gyeyabuwa bweyali mu maka ga Nabakooza e Nsambya nga 13 March 2009.

“Ssekabaka yatuuka mu maka ga Nnamwandu Nabakooza mu kiro kya May 27 mu kiseera ekyo. Obote yali ataddewo ekirabo kya Pawunda12,500  bwebukadde bwa silingi 40 eri omuntu yenna eyali ayinza okubuulira Obote  Ssekabaka gyeyekwese.

Mu bizibu  byonna nga mwemuli n’okukemebwa olw’ensimbi, Omukadde Nabakooza awatali kutya, yayaniria Ssekabaka era nabeera naye okumala ennaku kkumi na mwenda bw’eddu! Ekikolwa ekyo kyali kyabuzira ddala. Kiraga omuntu omuvumu, ayagala ennyo Kabaka we n’eggwanga lye, alina emizzi, era omweteefuteefu okufiirira Kabaka we!! Oyo nno ye muzira atuleese wano ffenna. Buganda n’ensi yonna enejjukiranga obuzira bwe emirembe gyonna” Omutanda bwe yategeeza.

Nnyinimu azzeemu nasiima Nabakooza olw’obuvumu bweyalaga mukiseera ekyo era bwatyo nasiima ne mutabani we kati omugenzi Male eyayambako Nnyina okulabirira Ssekabaka.

Beene alagidde obuzira obwayolesebwa Nabakooza kibeere kyakuyiga eri abantu bonna naddala nga kituuse ku nsonga ezikwata ku ggwanga n’ensi yabwe nga bwekyali mukiseera ekyo.

Empologoma era esiimye amaka agaweebwa omugenzi g’ekirabo gafuuke ga byafaayo, abantu webanajjanga okuyiga n’okumanya obuzira bwe.

Kitegeerekese nti omugenzi Nabakooza yali yasaba muzzukulu we Imelda Nabusuulwa  ne Kayiwa Yuda basigale nga balabirira ekifo kino era nga bakolagana butereevu n’Obwakabaka.

Omuteregga era yeebazizza omuzzukulu Imelda Nabusuulwa olw’okujjanjaba  Omuzira Nabakooza obutakoowa era neyeebaza omusawo Kafuuma Deogratius amujjanjabwe okumala ebbanga eddene.

Omuzira Nabakooza yafa wiiki ewedde ku myaka 103, oluvannyuma lw’okumala akaseera nga atawaanyizibwa ekirwadde ky’omutima ne Ssennyiga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist