Bya Ssemakula John
Bbanda – Busujju
Omusumba w’essaza ly’ Ekeleziya erya Kiyinda Mityana, Joseph Anthony Zziwa atabukidde abasawo mu ggwanga abakweka omusaayi mu malwaliro olwo nebaguguza abagwetaaga kyagamba nti kikyamu ekirina okukoma.
Okusaba kuno Omusumba Zziwa akukoledde Bbanda mu Busujju bw’abadde atongoza enteekateeka ya Buganda ey’ okukungaanya omusaayi mukitundu kino.
“Omuntu bwatona ate omulala nakikozesa okufuna ssente ekyo si kirungi era si kituufu, ffenna tukimanye nti omusaayi tegutundwa,” Omusumba Zziwa bwe yagambye.
Omusumba Zziwa yasabye abantu bulijjo okujjumbira okugaba omusaayi kisobozese abagwetaaga okugufuna kubanga guno tegulina kkolero nga bwebataguwaayo tegusobola kubeerayo.
Ono era asabye abakayala ab’embuto okweyunira amalwaliro bafune obujjanjabi obwetaagisa naddala omusaayi kuba bebamu kwabo ababeera basinga okugwetaaga.
Omusumba Zziwa alaze obwenyamivu olwobubenje obusukiridde ensangi zino nasaba abantu okweddako ngabali ku makubo.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Eddy Kaggwa Ndagala, yeebazizza nnyo abazze n’abategeeza nti enteekateeka ya kutumbula bya bulamu abantu bakole bakyuuse embeera yaabwe.
Ye omwami wa Kabaka akulembera essaza Busujju, Jjingo Mark Kaberenge asabye gavumenti eyawakati okulabira ku Bwakabaka ku nteekateeka y’okunoonya omusaayi era eweeyo obuyambi obwetaagisa.
Omubaka David Kalwanga Lukyamuzi, asabye abakulembeze okuggya ebyobufuzi mu nteekateeka z’Obwakabaka kubanga zino ziyamba abantu bonna awatali kusosola.
Enteekateeka eno egenda ku komekerezebwa ku lwakutaano wiiki eno era ngayakutalaaga mu bitundu bya Busujju ebyenjawulo.
.