• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'Obulamu

Owek. Lwasa asabye abantu okufaayo ku nteekateeka z’eby’obulamu

Gambuuze by Gambuuze
September 13, 2022
in Eby'Obulamu
0 0
0
Owek. Lwasa asabye abantu okufaayo ku nteekateeka z’eby’obulamu
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Gomba

Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Ahmed Lwasa, asabye abantu ba Buganda okuvangayo bawagire enteekateeka z’Obwakabaka  naddala ez’ebyobulamu kuba ziri ku mulamwa ogugasa abantu bonna.

Bino yabyogeredde Gomba mu ggombolola y’e Kabulasoke bw’abadde atongoza enteekateeka ey’okugaba omusaayi mu Ssaza ly’e Gomba ku Mmande.

Owek. Lwasa yagambye nti kikulu nnyo abantu bonna okujjumbiranga enteekateeka nga okugaba omusaayi singa ziba zireeteddwa mu bitundu byabwe awatali kukakibwa, kubanga zigenderera okutaasa obulamu bw’abantu naddala abo abaabulijjo.

Yayongeddeko n’agamba nti newankubadde Obwakabaka butadde amaanyi ku kaweefube ow’okukungaanya omusaayi, wakyaliwo ebisoomooza bingi, kyokka n’akakasa nti Obwakabaka tebujja kussa mukono okutuusa nga ensonga eno egguse.

Owek. Lwasa yasabye gavumenti nayo okussa amaanyi mu kaweefube ono kisobozese amalwaliro okubaamu  omusaayi kikendeeze ku muwendo gw’abantu abafa olw’ebbula lyagwo.

Omwami w’essaza ly’e Gomba Kitunzi, Oweek. Celestino Jackson Musisi, yagambye nti abantu ba Kabaka e Gomba beeteefuteefu okugaba omusaayi okukendeeza ku bbula lyagwo.

Omuttaka Nakigoye Nabiba Samson Lukabya nga yakulira ekika ky’Ekinyomo nga yakiikiridde ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation, agambye nti enteekateeka eno yakusasaanira amasaza gonna mu Buganda , naasaba gyebatannatuuka beetegeke .

Enteekateeka eno ne leero ekyagenda mu maaso nga leero olusiisira lukubiddwa mu ggombolola ya Ssaabawaali Kyengeza, mu Gomba ng’egenda kukulemberwamu Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Ab’Obusolya, Omutaka Augustine Kizito Mutumba.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist