• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Omugagga Ham gamuwedde; Gavumenti esazizzaamu ebyapa byeyafuna ku ttaka lya Kabaka ku kifuba

Gambuuze by Gambuuze
September 7, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Omugagga Ham gamuwedde; Gavumenti esazizzaamu ebyapa byeyafuna ku ttaka lya Kabaka ku kifuba
0
SHARES
84
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kigo – Busiro

Kamisona akola ku by’okuwandiisa ettaka mu Minisitule y’ebyettaka  alagidde ebyapa byonna omugagga Hamis Kiggundu byeyafuna ku ttaka lya Kabaka ekigo bisazibwemu kubanga yabifuna mu bukyamu.

Ensala eno eriko omukono gwa Baker Mugaino nga yakoleddwa eggulo nga 6, September, 2022 eraga nti omugagga Hamis abasinga gwebamanyi nga Ham yali yafuna ebyapa mu lutobazi lwe nnyanja Nalubaale nga akolagana n’abakulu abamu e Wakiso naye nga bitambulira ddala nebitwaliramu n’ ettaka lya Ssaabasajja Kabaka .

“Nga nkozesa obuyinza obumpeebwa etteeka ly’ ettaka akawaayiro nnamba 91, kizudde nti ebyapa ebiri ku bulooko ya Kyaddondo nnamba 273 ku poloti nnamba 23974, 23975, 23976, ne 23977 byagyibwa mu poloti nnamba 23720 era byakolebwa mu bukyamu. Ndagira bino okusazibwamu kuba bikyamu, ” Ekiwandiiko ky’ ensala bwe kyasomye.

Kino kiddiridde enjuyi zombi okuli olwa  Hamis Kiggundu ne kampuni ye eya Kiham okugugulana n’ekitongole ekirabirira ettaka lya Kabaka ki Buganda Land Board  kubwa nnannyini bw’ettaka lino eriwerako yiika 140 nnamba.

Obwakabaka bwa Buganda bwavaayo nebuyimiriza omugagga Ham eyali atandise okuteeka ekkubo wakti wa Mirembe Villas ne wooteri ya Serena Kigo nga ayagala okutuuka ku ttaka eriri mu lutobazi lweyali agamba nti lirye era nalaga n’ebyapa okukakasa kino.

Mmengo yalemerako nga Ham bweyali afunye ebyapa bino mu bukyamu era nesaba Kamisona akola ku kuwandiisa ebyapa mu Minisitule y’ebyettaka abisazeemu era enjuyi zombi nezikkiriza okwelula ensalo.

Wabula Alipoota ezaakolebwa abasaveya ku njuyi zombi zalaga nti waliwo ebyapa bya Freehold ebyali bituuziddwa ku ttaka lya Kabaka erya  Mayiro okwali Poloti nnamba  23974, 23975, 23976 ne 23977 nga zonna ziri mu mannya ga Kiham Enterprises era zino zonna zaali ziteereddwa ku byapa bya mayiro nnamba  38, 87,99 ne 110 ebya Ssaabasajja Kabaka.

Ekiwandiiko kya Mugaino kyewuunya engeri Omupunta amanyi kyakola bwayinza okukwata ekyapa kya Freehold nakituuza ku Mayiro ekintu ekimenya amateeka.

Okusinziira ku kiwandiiko erimu ku ttaka lino eryaweebwa Ham lya lutobazi lwa nnyanja Nalubaale nga abawoofiisi y’ ebyettaka e Wakiso bakola nsobi okuwaayo ettaka lino nga bakimanyi nti luno lutobazi lwennyini.

Ensala eno era eraga nti Ham okufuna ettaka lino yasembebwa Kajjansi Town Council etwalibwa aba Makindye Ssaabagabo ku nsonga z’ettaka nakyo kyali kimenya mateeka nga n’okulisabayo kyali kikyamu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.