
Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Hajji Twaha Kaawaase Kigongo asabye abantu okujjumbira eby’emizannyo ebyenjawulo kuba bino bisobola bulungi okutumbula obumu n’okulaakulanya eggwanga.
Bino Owek. Kaawaase abyogedde asisinkanye aba Great Strikers International abatumbula omuzannyo gw’ebikonde wansi wa Uganda Professional Boxing Championship nga ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Eby’emizannyo bikuuma obumu kuba tebimanyi mawanga era ebyemizannyo ye Federo esooka bikung’aanya abantu bonna si nsonga bibiina ki era bwebajja beerabira gyebava nebakulembeza omuzannyo gumu,” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza.
Katikkiro Kaawaase ategeezezza nti emizannyo mikulu nnyo mu Buganda ne Uganda kuba binyweza obumu mu bantu ba Kabaka awamu n’okutumbula embeera zabwe kuba bisobolera ddala okuvaamu ssente.
Ono asabye bamusaayimuto mu muzannyo guno awamu n’emirala egyetaaga amaanyi okukozesa ekiseera kyabwe kuba gyetaaga okufunamu nga omuntu akyali muvubuka kuba gyakoma okukula n’omutindo gukendeera.
Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’ Emizannyo n’Abavubuka awamu n’Okwewummuza, Henry Ssekabembe Kiberu bano abeebazizza olw’okuwanika bbendera ya Uganda ne Afirika.
Owek. Ssekabembe agamba nti Buganda eriko enkolagana gyeyagala okuteekawo wakati w’ abatwala ebikonde mu ggwanga okusobola okwongera okutumbula omuzannyo guno.
Amyuka Pulezidenti wa Uganda Professional Boxing Commission, Abby Mugayi ategeezezza nti balina omulimu gw’okutumbula ebitone by’ abavubuka mu ggwanga.









