Bya Ssemakula John
Kololo – Kyaddondo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atenderezza Gen Elly Tumwine olw’okwagala ensi ye nga kino yakiraga bweyeetaba obutereevu mu lutalo lw’okununula eggwanga natabukira abo ababadde bajaganya olw’okufa kwe.
Bino Museveni abyogeredde Kololo ku Mmande eggwanga bweribadde likungubagira omugenzi nga omubiri gwe tegunatwalibwa Kazo gyagenda okuziikibwa ku Lwokubiri.
” Singa Katonda yali atwagala kubeera mu Ggulu, lwaki yandituleese wano? Yatuleeta wano okubaako kyetukola oba olwawo okubaako kyetugattako. Ky’okola ku nsi kikulu nnyo. Tumwine afiiridde ku myaka 68 abadde akyali muto naye alina bingi byatuuseeko,” Museveni bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Pulezidenti Museveni agamba nti Katonda akola mu ngeri ez’ewuunyisa kuba Gen Elly Tumwine bweyafulumya essasi eryasooka lyali mu nsobi, era bangi bamutabukira nga bamunenya okufulumya essasi.
Ono asabye abatakkiriza okumanya nti zaali ntegeka za Katonda Tumwine okufulumya essasi eryasooka nga Feb6, 1981.
Pulezidenti Museveni agamba nti Gen Elly Tumwine tafudde era akyaliwo kuba alese abaana era tajja kusaanawo. Museveni agasseeko nti naye kennyini bwaliba avudde tajja kusaanawo kuba alina abaana era bajja kusigalawo.
Okukungubalira kuno kutandise nakusaba okulembedwamu omulabirizi w’obulabirizi bwe Kigezi Eyawummula omulabirizi Edward Muhima era bwabadde abulira agambye nti abantu abogera ebyobusiru ku Gen. Tumwine bakola kyabwerere kubanga tewali atagenda kukomba ku kufa.
Omuduumizi w’egye ly’eggwanga Gen.Wilson Mbaddi agambye nti Gen. Elly Tumwine abayigiriza ebintu bingi kuluda lw’ebyokwerinda nakakasa nti UPDF egenda kukwatirako abaana b’omugenzi okulaba nga basigala wamu.
Bo abaana b’omugezi nga bakulembedwamu mukadde wabwe omukyala batendereza nyo Gen. Elly Tumwine olwokulabilira era nti yadde agenze bajakusobola okwebezaawo.
Omukolo guno gwetabiddwako ,minisita w’ebyenjgiriza Janet Kahaaha Museveni,sipiika wa palamenti Anet Anita Omong,Ssaabalamuzi Owiny Dollo, Bannamagye nga bakulembedwamu Ssaabaduumizi w’eggwanga Gen.Wilson Mbaddi, ab’oluganda lw’omugenzi n’abantu abalala bangi.
Gen. Elly Tumwine agenda kuziikibwa olunaku olw’enkya e Mukuru Rwemikoma mu disitulikiti ye Kazo.