
Bya Ssemakula John
Busega – Busiro
Ekitongole ekivunanyizibwa ku butonde bw’ensi ki NEMA , Poliisi wamu n’amagye bakedde kugobagana n’abantu ababadde beesenza wamu n’okukolera mu lutobazi lwa Lubigi e Busega.
Kino kikoleddwa ng’emu kuntekateeka ey’okumalawo ekizibu eky’abantu abatyobola obutonde bw’ensi .
Abamu ku basinze okukosebwa kuliko; abavuzi ba Takisi mu ppaaka y’e Mityana ebadde yateekebwa ku luguudo lw’e Mityana okuliraana enkulungo edda e Bwaise, abatunda ebyenyannja ebimanyiddwa nga Fille awamu nabalimi b’ebimuli.

Olwa leero luyingidde olunaku olw’okubiri nga ekitongole ki NEMA kikola ebikwekweto ku luguudo lwa Northern By- Pass okuteeka ekiragiro kya Pulezidenti Museveni mu nkola.
Abasubuuzi bano bategezezza nti tebamanyi kyakuzzako oluvanyuma lw’okuba nga ekifo webabadde banonyezza ensimbi bagobeddwawo.
Waliwo n’ekoleero elya Emiri Strong Blocks nga bano babadde bakubi ba bulooka erimenyeddwa nga abakulu bagamba nalyo liri mu lutobazi.









