Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga akunze bannayuganda yonna gyebali okwettanira omwoleso gwa Buganda kibayambe okumanyisa byebakola n’okwerula emikisa gyabwe egy’okulaakulana.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde alambika ku nteekateeka y’omwoleso guno ogwa ‘Omwoleso Gaggadde Expo ogugenda okuyindira mu lubiri e Mmengo nga 19 okutuuka 28 omwezi guno omwaka 2022 .
“Omuntu yenna anaagaggawala ateekwa okubaako kyatunda ekyamaguzi kiyinza okuba ekikalu oba ekitali kikalu, nze ndi munnamateeka era eky’okubagagga kyetunda ge mateeka genasoma. Tetusobola kubaako bugagga bwetutuukako nga byetukola tebimanyiddwa,” Owek. Mayiga bw’alambuludde.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga mu mwoleso guno abantu bajja kulaga emirimu gyabwe emirala gyebakola bwatyo nasaba abantu okuvaayo okujjumbira basobole okulaakulana kuba obugagga buva mukutunda ebyamaguzi.
“Obwakabaka bwategeka omwoleso guno nga bwagala ensi etumanye. Bwoba n’ekintu ekirungi naye nga abantu tebakimanyi ofaanana n’oyo atakirina. Tusoosowaza eby’obulambuzi n’ebyobulimi mu mwoleso guno ogwa Buganda kuba eby’obulambuzi byetulina abantu tebayinza okubyeyunira okuggyako nga babitegedde,” Mayiga bw’alambuludde.
Kinajjukirwa nti enteekateeka eno etegekeddwa ekitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board wamu naba Luba Events. Omu ku bategesi, Moses Lubuulwa agamba nti ebyokuyiga bigenda kuba bingi mu mwoleso guno okuva ku by’obulimi obulunzi nebirala.
Ensisinkano eno yeetabiddwako Minisita w’ebyobulambuzi, Owek. David Kyewalabye Male, Kitunzi wa BHTB Carol Nnalinnya awamu n’abakungu abalala.