
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Okwewummuza, Owek. Henry Sekabembe Kiberu asabye abavubuka bulijjo okwetegekera ebiseera byabwe eby’enkya kibayambe okubeera n’obulamu obulungi.
Okusaba kuno Minisita Ssekabembe akukoze asisinkanye abayizi ba Bishop’s Senior Secondary school Mukono, abakiise embuga olwa leero.
Owek Sekabembe agambye nti omuvubuka omutegeevu y’oyo atambulira ku biruubirirwa bye n’abissa mu nkola ne kimuyambako okumanya obulamu bwe obw’omu maaso bwe buliba.
Abagambye nti kino kye kiseera mwe balina okumanya emikwano, emirimu, n’amaka bye balibeera nabyo mu biseera eby’omu maaso.

Minisita Ssekabembe abakubirizza okusoma ennyo basobole okuganyula baabwe n’abantu abalala. Abasabye okwettanira enkola ey’okutereka ensimbi kw’ezo bazadda baabwe zebabawa nga beesigama ku nkola eya Fissa, Tereka, Siga.
Akulembeddemu abayizi bano era omukiise w’Abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda, Owek Harriet Namukasa bano, abakubirizza okwettanira okwogera olulimi oluganda era balwagazise n’abalala abatali Baganda, kuba Nkobazambogo tesosola.
Ate ye omugunjuzi mu kisaakaate kya Nnabagereka era omukiise w’Abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda, Owek Rashid Lukwago, abategeezezza nti Nkobazambogo tekoma ku buwangwa na nnono wabula kitegeeza kukola, kwerwanako kukyuusa mbeera omuvubuka n”abaako kye yekolera nga teyesigamye ku kuweebwa kwokka.
Ssentebe wa Nkobazambogo mu ssomero lino, Jacob Kalema yeebazizza Obwakabaka okubateekateeka obulungi n’okubalambika ku biseera byabwe ebyo mu maaso.









