Bya Francis Ndugwa
Lwengo – Buddu
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eveeyo eyambeko ku bannayuganda abagatta omutindo ku kirime ky’ emmwaanyi nga tenanoonya baggwira kubakwasizaako.
Okusaba kuno Owek. Mayiga akukoledde Mbiriizi e Lwengo mu Buddu ku Lwokusatu bw’abadde alambula abalimi b’emmwaanyi mu nteekateeka y’ Emmwaanyi Terimba egendereddwamu okugoba obwavu mu bantu ba Kabaka.
“Abali ku ggwe mmwaanyi abazongeddeko omutindo nga bannayuganda gavumenti beeba ekwatizaako, abagwira ebaviireko ddala. Bagamba nti bw’oyongerako omutindo oyongera okufuna ssente ate nga kituufu, bwaba Nabatanzi asiika kkaawa ate lwaki nnoonya Allan Smith,” Katikkiro Mayiga bw’abuuzizza.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti omulimu gw’emmwaanyi guliisa abantu bangi omuli abazirima, abazitunda kuno n’ebweru awamu nabo abazisunsula bwatyo nalaga obwetegefu okwaniriza ensonga zonna ezitereeza omulimu guno omuli n’okusitula omutindo singa zisosoowaza bannansi okusinga.
Owek. Charles Peter Mayiga bw’atuuse mu ggombolola ya Mituba VII e Kyenvuunikidde mu nnimiro ya Yosum Muyambi omunyarwanda wa Kabaka ng’ono alina yiika ezisoba mu 35 mu bitundu ebyenjawulo, abaayo abasabye emmwanyi okugiwa obudde nga omulimu gwonna omulala okusobola ogufunamu.
Ono era abasabye abazifunyeemu okuyambako abalala kuba tebasobola kubeera bulungi nga balirwana babwe bali bubi bwatyo nabasaba bagabane amagezi n’endokwa kibayambe okulaakulanira awamu olwo Buganda edde ku ntikko.
Ye Minisita omubeezi ow’Ebyobulimi n’Obulunzi Owek. Hajji Amis Kakomo, yebazizza Mukuumaddamula olwa kawefube n’okulungamya kwakola ku nsonga y’emmwaanyi.
Omulimu Kafeero yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubalambika entakera ku nsonga z’emmwaanyi awamu n’okubakubiriza bulijjo okubeera abakozi.
Mukulambula kuno Katikkiro, asookedde wa Munnyarwanda wa Kabaka Owek. Yosam Kafeero Muyambi, oluvannyuma atuuse e Kaselutwe ewa Wilson Ntambazi, yeeyongeddeyo ku ffaamu ya Muhigira Coffee Estate era nalambula omulimi Patrick Ssemanda awamu n’omuvubuka Lawrence Kabumbuli nga bonna abasabye okunyweza ekkubo lyebakutte.
Mu nteekateeka eno, Kamalabyonna abadde awereekeddwako minisita w’ Abavubuka, Emizannyo n’Okwewumuza Owek. Henry Kiberu Ssekabembe, Minisita w’ Amawulire Owek. Noah Kiyimba awamu n’abakungu abalala.