Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Minisita w’ Obwakabaka avunaanyizibwa ku lulimi Oluganda, ennono, Obuwangwa n’ebyobulambuzi awamu n’ebyokwerinda, Owek. David Kyewalabye Male akunze abantu ba Buganda okusigala nga balima emmwaanyi wadde nga waliwo abamu abakwatirwa ekirime kino obuggya.
Bino Minisita Kyewalabye abyogeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo lw’obukadde obusobye mu 26 okuva mu Bannamawokota abakiise embuga ku Lwokubiri.
“ Eyo yonna Kamalabyonna gyaayise ensonga eno ekoleddwa bulungi nekwasa nabamu obuggya nebagamba nti oba omulimu guno tugwonoone. Wali enkola nga olaba siyaguteereza okuggyako okugwonoona. Basookera mu mateeka nga singa bakusanga nga ennimiro ezise nga akagoogwa kanuuna. Abagezaako okwonoona omulimu guno mubatebuse nga Kamalabyonna bwabagamba nti mulime emmwanyi musirike,” Owek. Kyewalabye bw’ ategeezezza.
Ono annyonnyodde nti amafuta g’ Abaganda z’emmwaanyi era ye zzaabu wa Buganda gwebasobola okutunda okusobola okukyuusa embeera z’abantu ba Kabaka nga zibagobako obwavu.
Owek. Kyewalabye Male akunze abantu ba Kabaka okwongera okulima kuba Oluwalo okukola amakula obulungi kwekuba nti abantu ba Kabaka bali bulungi mu mbeera zabwe era nga balina emmere ebamala.
Yeebazizza Omwami w’essaza Kayima Gabriel Kabonge olw’okukunga abantu ba Kabaka okusobola okutwala enteekateeka za Buganda mu maaso era namukuutira okunyweza obwerufu n’obukozi.
Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye Bannamawokota obutaddiriza ku buvunaanyizibwa bwabwe buno era nabakuutira okunyweza ebintu byonna Buganda byerinako enkizo nga okulima gonja, emmwaanyi n’ebirala.
Kayima Gabriel Kabonge ategeezezza nti emmerezo ezaateekebwa ku Masaza ziyambyeko nnyo okuzza essuubi mu balimi baazo era nakakasa nti obukozi bweyongera buli lukya mu Bannamawokota.
Abaami be Gombolola ezikiise embuga banjudde Alipoota omuli emirimu gyembuga nga bwegitambula , okuli ebibasoomoza nebituukiddwako era nebawera okusigala nga baweereza Beene.
Mu bakiise mubaddemu abakulembeze mu gavumenti eyawakati nga bakulembeddwamu omubaka wa mawokota Hilary kiyaga kwosa nabaana bamasomero era bano banjudde okumu ku kusoomozebwa kwebasingana mu kitundu kyabwe kyoka nebongedde okukatiiriza obukulu bwokukiika embuga.
Eggombolola ezikiise kubaddeko mutuba 2 kiringa ente, Ssaabagabi Muduuma ne Mutuba 1 Mpigi.