
Bya Ssemakula John
Entebbe – Busiro
Pulezidenti Yoweri Museveni ategeezezza nti ekimu ku nsonga ezaamulondesezza Ssenkaggale wa Democratic Party (DP), Nobert Mao kwekugatta Uganda, nga eriwamu era nga ya mirembe.
Bino Museveni abyogeredde ku mukolo, Nobert Mao ne Beatrice Akello kwebakubidde ebirayiro okuweereza mu bifo byebalondeddwamu nga guno guyindidde mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe.
Kinajjukirwa nti Mao yalondeddwa okubeera Minisita wa Ssemateeka n’ekitongole ekiramuzi ate Akello nalondebwa okulondoola emirimu gya gavumenti.
“Okulondebwa kwa Beatrice Akello kwaze lwakuba y’omu ku ba RDC abakoze obulungi era yayatiikirira mu disitulikiti gyabadde era y’omu ku bavubuka abato abamaanyi abazze. Ate Mao alina ebisaanyizo byonna eby’omukulembeze. Okulondebwa kwe kwabadde kwakugatta Uganda ebeere mu mirembe,” Museveni bw’agambye.
Ono ayogedde ku byafaayo bya Uganda nalaga nti wabaddewo enteekateeka ez’enjawulo okugatta eggwanga omwali eya Ignatious K. Musaazi naba ‘Uganda National Congress Party’ eyavaamu DP eya Bakatoliki ne UPC eyabakulisitaayo awamu ne Kabaka Yekka.
Museveni agamba nti bino byonna byakolebwa okugezaako okugatta eggwanga abantu beerabire enjawukana naye ku byonna tekuli kyasobola kukola.
Ono agasseeko nti mu 1979 bwebaali mu Uganda National Liberation Front (UNLF) nga bagoba Idi Amin baddamu okwegatta naye era basattulukuka nemuvaamu NRA n’ebibiina ebirala.
Okusinziira ku Museveni bwebawamba obuyinza nebateekawo emirembe mu 1986 baddamu nebagatta abantu naye ebibiina by’obufuzi bwe byaddamu okukola abantu baddamu okweyawulamu era abamu nebava mu NRM nebagenda mu bibiina ebirala.
Museveni annyonnyodde nti okufaananako ne Bayibuli bwesomesa, osobola okulekawo endiga 70 nogenda okunoonya endala 30 ezaabula era gwe mulimu gwaliko kati okusobola okugatta Uganda.
“Ndi musanyufu nti abantu nga Beti Kamya, Jimmy Akena ne Mao basobodde okukomawo, nkola ngenderere okwegatta tusobole okukola ku bizibu by’eggwanga,” Museveni bw’akaatirizza.
Abalayiziddwa Museveni abasabye okukola ku bizibu by’abantu kiyambe okuteekawo obwenkanya n’ enkulaakulana.









