Bya Ssemakula John
Kampala
Omukulembeze w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine atabukidde ab’oludda oluvuganya olw’okusonga mu kibiina kye okuvunaanyizibwa obutereevu ku nfa y’omuyizi wa Uganda Christian University (UCU), Betungura Bewatte.
Bewatte eyali asoma mu mwaka gwe ogw’okubiri ku UCU, yafumitiddwa ekiso nga abawagizi beyeesimbye ku kkaadi ya NUP bwebaali balemesa munnakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC), Justus Tukamushaba okuyingira mu kisaawe kya Makerere Rugby Grounds.
Abakulembeze mu bibiina eby’enjawulo ku ludda oluvuganya omuli ne Justice Forum(JEEMA) bakyanenya NUP olw’okulemwa okukoma ku bawagizi baakyo.
Kyagulanyi agamba nti kyansonyi okulaba nti bannabwe ku ludda oluvuganya babanenya ku kino kyokka nga bakimanyi nti gavumenti esobola bulungi okubeera emabega w’olukwe luno.
“Ekisinga okumalamu amaanyi kwekuba nti abantu abali ku ludda olumu naffe ate batunenya olw’okufa kw’omwana ono nga tewali kunoonyereza kwonna kwali kukoleddwa,” Kyagulanyi bw’agambye.
Okusinziira ku Bobi Wine emu yeemu ku ngeri gavumenti gyeyagala okuteekawo enjawukana mu bagivuganya awamu nokwonoona erinnya lya NUP nga ebalaga nga abantu abaagala obuvuyo.
Kyagulanyi yasabye bannayuganda okusigala nga amaaso gabwe bagakuumira ku mulabe gwebalina kuba ali omu nga eby’okwetematemamu nga abavuganya tebirina gwebigenda kuyamba kuwangula Pulezidenti Museveni.
Bobi Wine agamba nti gavumenti ekyaleeta obutego bungi okulaba nti eyongera okwawula mu bantu abagivuganya esobole okwenywereza mu buyinza.
Ono yakubagiza abafamire awamu n’ ettendekero lya UCU era nasaba abakwatibwako okukola kyonna ekisoboka ebikolwa bwebiti bireme kuddamu kulabikira mu bayizi.