Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Kampuni ya Buganda eyatandikiddwawo okusuubula emmwaanyi ku balimi n’okuzongerako omutindo eya Mwanyi Terimba Ltd, emirimu egitandikidde mu maanyi .
Bano emirimu gy’okugula n’okusuubula emmwaanyi ku balimi bagitandise mu May 2022 nga webutuukidde olwa leero nga baakagula emmwaanyi eziwera ttani 200 era abagikulira bagamba nti eno ntandikwa nnungi.
Ssenkulu wa kampuni eno, Omuk. Charles Kironde, agamba nti emmwaanyi zino zikola ebitundu 60-70 ku zibadde zisuubirwa okuva mu balimi abali mu Buganda mu sizoni eno.
Kironde agamba nti kampuni eno esaasaanyiza ssente eziwera akawumbi kamu n’obukadde 500 (1.5 billion) okugula emmwaanyi zino. Era basuubira okugula emmwaanyi endala eziwera ttani 100 Sizoni eno wenagwerako.
Kampuni eno ensimbi kwegulira ziriko waggulu nga Kiro ya Kase bagigula wakati wa 6700 – 7000 eza siringi okusinziira ku mutindo gw’emmwaanyi omuntu zaalina era zino zisobola okweyongera okusinziira ku ntambula ya katale.
Emmwaanyi olutuusibwa ku sitoowa zisooka kukeberwa n’okuzipima olwo nezisunsulwamu okusinziira ku bunene bwazo olwo neziteebwa mu nsawo okusinziira ku bunene bwazo.
Kampuni eno evujjiririrwa butereevu eggwanika lya Buganda era buli mbalirira ebeeramu n’omutemwa okusobola okutambuza emirimu.
Sitoowa za Kampuni eno mu kiseera kino ziri Namanve nga zipangisibwa okuva ku Nucafe nga bwebalinda okuzimba Sitoowa ezabwe okusobola okutwala enteekateeka eno mu maaso.
Mu kiseera kino kampuni eno tenatandika kutwala mmwaanyi wabweru nga kati eziguza kampuni nga Nucafe, Olam ne Kyagalanyi.
Era Kironde annyonnyola nti emmotoka zebeeyambisa okutambuza emmwanyi zino okuva ku balimi abazirina mu bungi nazo zipangisibwa okuva ku Nucafe wadde bategeka okuleeta emmotoka ezabwe.
Kinajjukirwa nti kampuni eno eya Mwanyi Terimba yatandikibwa mu 2021, okusobola okufunira emmwaanyi akatale nga bazitunda ebweru nga zigattiddwako omutindo.
Ekirowoozo kino kyava ku nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba eyatandikibwa Obwakabaka nga ewa abalimi endokwa awamu n’okubawa amagezi ku ngeri entuufu gyebalina okulimamu emmwaanyi wansi w’ekitongole ki BUCADEF nga kitwagana butereevu naba ‘Uganda Coffee Development Authority (UCDA).’
Bweyabadde ayogera ku nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba gyebuvuddeko, Katikkiro Mayiga yategeezezza Obuganda nti enteekateeka eno eyambye okwongera ku bungi bw’ emmwaanyi ezirimibwa mu ggwanga nga kati ziri ku bitundu 35 ku buli 100.
Kampuni eno esuubirwa okugaziya emirimu gyaayo okusukka amasaza 18 aga Buganda esobole okuganyula n’abalimi abalala abali mu Uganda.